Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Zabbuli Psalms

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66 67 68 69 70 71 72 73 74 75 76 77 78 79 80 81 82 83 84 85 86 87 88 89 90 91 92 93 94 95 96 97 98 99 100 101 102 103 104 105 106 107 108 109 110 111 112 113 114 115 116 117 118 119 120 121 122 123 124 125 126 127 128 129 130 131 132 133 134 135 136 137 138 139 140 141 142 143 144 145 146 147 148 149 150
1 Katonda, Katonda, Mukama, ayogedde, N'ayita ensi okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba. Katonda amasamasizza.
2 Okuva mu Sayuuni, obulungi obutuukiridde, Katonda amasamasizza.
3 Katonda waffe alijja, so talisirika; Omuliro gulirya mu maaso ge, Omuyaga omungi gulimwetooloola.
4 Alikoowoola eggulu waggulu, N'ensi, alyoke asalire abantu be omusango:
5 Mukugriaanye abatukuvu bange awamu we ndi; Abaalagaana nange endagaano n'essaddaaka.
6 N'eggulu liribuulira obumukirivu bwe; Kubanga Katonda ye mulamuzi yennyini. (Seera)
7 Muwulire, abantu bange, nange naayogera; Ggwe Isiraeri, nange naakutegeeza; Nze Katonda, Katonda wo.
8 Siikunenye lwa ssaddaaka zo; N'ebyokebwa byo biri mu maaso gange bulijjo.
9 Siriggya seddume mu nnyumba yo. Newakubadde embuzi ennume mu bisibo byo.
10 Kubanga buli nsolo ey'omu kibira yange, N'ente ez'oku nsozi lukumi.
11 Ennyonyi zonna ez'oku nsozi nzimanyi: N'ensolo ez'omu nsiko zange.
12 Singa nnumwa enjala, sandikubuulidde: Kubanga ensi yange, n'okujjula kwayo.
13 Nze naalyanga ennyama eya seddume, Oba naanywanga omusaayi gw'embuzi?
14 Owenga Katonda ssaddaaka ey'okwebaza; Osasulenga obweyamo bwo ali waggulu ennyo:
15 Era onkoowoolenga ku lunaku olw'okulaba ennaku; Ndikuwonya, naawe olingulumiza nze!
16 Naye omubi Katonda amugamba nti Ofaayo ki okubuulira amateeka Bange, N'oyingiza endagaano yange mu kamwa ko?
17 Kubanga okyawa okuyigirizibwa, N'ebigambo byange obisuula ennyuma wo.
18 Bwe walaba omubbi walagaana naye, Era wassa ekimu n'abenzi.
19 Owaayo akamwa ko eri obubi, N'olulimi lwo lukola eby'obulimba.
20 Otuula ng'owma muganda wo; Era owaayiriza omwana wa nnyoko.
21 Ebyo wabikola, nange ne nsirika; N'olowooza nga nenkanankanira ddala naawe: Naye ndikunenya, ne mbiteeka mu maaso go.
22 Kale mulowooze kino, mmwe abeerabira Katonda, Nneme okubataagulataagula, okubulawo alibawonya:
23 Buli ampa ssaddaaka ey'okwebaza angulumiza; Naye alongoosa obulungi ekkubo lye Ndimulaga obulokozi bwa Katonda.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]