1 Mukama gwe nneesiga: Mugamba mutya emmeeme yange nti Ddukira ku lusozi lwammwe ng'ennyoni?
2 Kubanga, laba, ababi bategal omutego. Bateekateeka akasaale ku lugoye, Balasize mu nzikiza abalina omutima ogw'amazima.
3 Oba nga emisingi girizikirizibwa, Kiki omutuukirivu ky'ayinza okukola?
4 Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu, Mukama, entebe ye eri mu ggulu; Amaaso ge galaba abaana b'abantu, ebikowe bye bibakema.
5 Mukama akema abatuukirivu: Naye omubi n'oyo ayagala eby'amaanyi emmeeme ye ebakyawa.
6 Ku babi anaatonnyesanga ebyambika; Omuliro n'ekibiriiti n'empewo ezookya binaabeeranga omugabo ogw'ekikompe kyabwe.
7 Kubanga Mukama mutuukirivu; ayagala eby'obutuukirivu: Abalina omwoyo ogw'amazima baliraba amaaso ge.