Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Zabbuli Psalms

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66 67 68 69 70 71 72 73 74 75 76 77 78 79 80 81 82 83 84 85 86 87 88 89 90 91 92 93 94 95 96 97 98 99 100 101 102 103 104 105 106 107 108 109 110 111 112 113 114 115 116 117 118 119 120 121 122 123 124 125 126 127 128 129 130 131 132 133 134 135 136 137 138 139 140 141 142 143 144 145 146 147 148 149 150
1 Ai Mukama, nkwesiga ggwe; nneme okuswazibwanga emirembe gyonna: Ondokole mu butuukirivu bwo.
2 Ontegere okutu kwo; yanguya okundokola: Obeerenga gye ndi olwazi olw'amaanyi, ennyumba enkomere okumponya,
3 Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange; Kale ku lw'erinnya lyo onkulembere onnuŋŋamye.
4 Onziye mu kyambika kye banteze enkiso; Kubanga ggwe oli bbugwe wange.
5 Mpaayo omwoyo gwange mu mukono gwo: Ggwe wannunula, ai Mukama, ggwe Katonda ow'amazima.
6 Nkyawa abo abalowooza ebigambo eby'obulimba ebitaliimu: Naye neesiga Mukama.
7 Naasanyukanga, naajaguzanga okw'okusaasira kwo: Kubanga walaba ebibonoobono byange; Wamanya emmeeme yange mu kulaba ennaku:
8 So tewanziyiza kukwatibwa mukono ogw'omulabe; Ebigere byange wabissa mu kifo ekigazi.
9 Onsaasire, ai Mukama, kubanga zinsanze: Eriiso lyange liweddemu olw'okunakuwala weewaawo, emmeeme yange n'omubiri givange.
10 Kubanga obulamu bwange buyita n'okutegana, n'emyakal gyange giyita n'okusinda. Amaanyi gange gampweddemu olw'okwonoona kwange, n’amagumba gange gakozze.
11 Ku lw'abalabe bange bonna nfuuse ekivume, Weewaawo, eri abaliraanwa bange ennyo, era nfuuse entiisa eri mikwano gyange: Abandaba mu kkubo ne banziruka.
12 Nneerabiddwa ng'omufu atalowoozebwa: Nfaanana ng'ekibya ekyatise.
13 Kubanga nawuLira okuwaayiriza kw'abangi, Ensisi yanneetooloola: Bwe baali bateesa ebigambo awamu ku nze, Ne basala amagezi okunziyako obulamu bwange.
14 Naye nakwesiga ggwe, ai Mukama: Nayogera nti Ggwe Katonda wange.
15 Entuuko zange ziri mu mukono gwo: Ondokole mu mukono gw'abalabe bange n'abo abanjigganya.
16 Amaaso go gaakire omuddu wo: Ondokole mu kisa kyo.
17 Nnemenga okukwatibwa ensonyi, ai Mukama; kubanga nkukoowodde ggwe: Ababi bakwatibwenga en basirikenga mu magombe
18 Emimwa egy'obulimba gisiruwalenga; Egyogera ku batuukirivu n'ekyejo, N'amalala n'okunyooma.
19 Obulungi bwo nga bungi bwe waterekera abo abakutya, Bwe wakolera abakwesiga, mu maaso g'abaana b'abantu!
20 Gy'oli awakwekebwa w'onoobakisanga enkwe z'abantu: Onoobakuumiranga mu weema mu kyama eri ennimi eziyomba.
21 Atenderezebwenga Mukama: Kubanga andaze ekisa kye eky'ekitalo mu kibuga ekiriko ekigo.
22 Nze nayogera nga nnyanguyiriza nti Nzildridde mu maaso go: Naye wawulira eddoboozi ery'okwegayirira kwange bwe nnakukoowoola.
23 Kale mumwagalenga Mukama, mwenna abatukuvu be: Mukama awonya abeesigwa, Era asasulira ddala mu bungi akola eby'amalala.
24 Muddengamu amaanyi, mugumenga omwoyo gwammwe, Mwenna abasuubira mu Mukama.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]