1 Naakugulumizanga, Katonda wange, ai Kabaka; Era neebazanga erinnya lyo emirembe n'emirembe.
2 Buli lunaku naakwebazanga; Era naatenderezanga erinnya lyo emirembe n'emirembe.
3 Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo N'obukulu bwe tebunoonyezeka.
4 Emirembe ginaasuutanga emirimu gyo eri emirembe, Era ginaatenderanga ebikolwa byo eby'amaanyi.
5 Ku bukulu obw'ekitiibwa obw'ettendo lyo, Ne ku mirimu gyo egy'ekitalo, kwe nnaalowoozanga.
6 Era abantu banaayogeranga ku bikolwa byo eby'entiisa nga bya maanyi; Nange naategeezanga obukulu bwo. Banaayatulanga obulungi bwo obungi bwe bujjukirwa, Era banaayimbanga ku butuukirivu bwo.
7 Banaayatulanga obulungi bwo obungi bwe bujjukirwa, Era banaayimbanga ku butuukirivu bwo.
8 Mukama wa kisa ajjudde okusaasira; Alwawo okusunguwala era wa kusonyiwa kungi.
9 Mukama mulungi eri bonna; N'okusaasira kwe okulungi kubuna emirimu gye gyonna.
10 Emirimu gyo gyonna ginaakwebazanga, ai Mukama; N'abatukuvu bo banaakweyanzanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa eky'obwakabaka bwo, Banaanyumyanga ku buyinza bwo;
12 Okumanyisanga abaana b'abantu ebikolwa bye eby'amaanyi, N'ekitiibwa eky'obukulu obw'obwakabaka bwe.
13 Obwakabaka bwo bwe bwakabaka obutaliggwaawo, N'okufuga kwo kunaabeereranga emirembe gyonna.
14 Mukama awanirira abagwa bonna, Era ayimiriza abakutama bonna.
15 Amaaso g'ebintu byonaa gakulindirira; Naawe obiwa emmere yaabyo mu ntuuko zaabyo.
16 Oyanjuluza engalo zo, N’okkusa buli kintu kiramu bye kyagala.
17 Mukama mutuukirivu mu makubo ge gonna,Era wa kisa mu mirimu gye gyonna.
18 Mukama aba kumpi abo bonna abamukaabira, n'amazima.
19 Anaatuukirizanga abo kye baagala abamutya; Era anaawuliranga okukaaba kwabwe anaabalokolanga.
20 Mukama akuuma abo bonna abamwagala; Naye ababi bonna alibazikiriza.
21 Akamwa kange kanaayogeranga ettendo lya Mukama; Era ne byonna ebirina emibiri byebazenga erinnya lye ettukuvu emirembe n'emirembe.