1 Mukama afuga; amawanga gakankane; Atuula wakati wa bakerubi; ensi esagaasagane.
2 Mukama mukulu mu Sayuuni; Era ali waggulu okusinga amawanga gonna.
3 Batendereze erinnya lyo ekkulu era ery'entiisa. Ye mutukuvu.
4 Era amaanyi ga kabaka gaagala go ogw'ensonga; Ggwe onyweze obutuukirivu, Otuukiriza omusango n'oburuukirivu mu Yakobo.
5 Mtunugulumizenga Mukama Katonda waffe, Era musinzizenga ku ntebe y'ebigere bye: Ye mutukuvu.
6 Musa ne Alooni mu bakabona be, Ne Samwiri mu abo abakoowoola erinnya lye; Baakaabira Mukama, n'abayitaba.
7 Yayogerera nabo mu mpagi ey'ekire: Baakwata bye yategeeza; n'ekiragiro kye yabawa.
8 Wabaddamu, ai Mukama Katonda waffe: Wali Katonda abasonyiwa, Newakubadde nga wabawalana eggwanga olw'ebikolwa byabwe.
9 Mumugulumizenga Mukama Katonda waffe, Musinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu; Kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.