Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Zabbuli Psalms

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66 67 68 69 70 71 72 73 74 75 76 77 78 79 80 81 82 83 84 85 86 87 88 89 90 91 92 93 94 95 96 97 98 99 100 101 102 103 104 105 106 107 108 109 110 111 112 113 114 115 116 117 118 119 120 121 122 123 124 125 126 127 128 129 130 131 132 133 134 135 136 137 138 139 140 141 142 143 144 145 146 147 148 149 150
1 Onsaasire, ai Katonda; kubanga abantu baagala okummira nze: Bazibya obudde nga balwana nga banjooga.
2 Abalabe bange baagala okummira obudde okuziba: Kubanga abalwana nange n'amalala bangi.
3 Buli lwe nnaatyanga, Neesiganga ggwe.
4 Mu Katonda ndyebaza ekigambo kye: Katonda gwe nneesize, siritya; Ab'omubiri bayinza kunkola ki?
5 Bakyusa ebigambo byange okuzibya obudde: Ebirowoozo byabwe byonna bimbaako olw'obubi.
6 Beekuŋŋaanya, beekweka, Bakebera ebisinde byange, Nga bwe baateega emmeeme yange.
7 Baliwona olw'obutali butuukirivu? Mu busungu suula amawanga, ai Katonda.
8 Ggwe obala okutambulatambula kwange: Oteeke amaziga gange mu kasumbi ko; Tegawandiikibwa mu kitabo kyo?
9 Abalabe bange ne balyoka badda ennyuma ku lunaku lwe ndikaabiriramu: Kino kye mmanyi, nga Katonda ali ku lwange.
10 Mu Katonda nditendereza ekigambo kye: Mu Mukama nditendereza ekigambo kye.
11 Katonda gwe nneesize, siritya; Abantu bayinza okuakola ki?
12 Ebirayiro byo biri ku nze, ai Katonda: Ndisasula ssaddaaka ez'okwebaza eri ggwe.
13 Kubanga wawoaya emmeeme yange okufa: Tewawonya bigere byange okwesittala? Ndyoke ntambule mu maaso ga Katonda mu musana ogw'abantu abalamu.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]