1 Mukama, ggwe wali kifo kyaffe eky'okutuulamu Mu mirembe gyonna.
2 Ensozi nga tezinnazaalibwa, Era nga tonnabumba nsi n'ebintu Okuva mu mirembe gyonna okutuusa nya mirembe gyonna, ggwe Katonda.
3 Osindika abantu mu kuzikirira; Era oyogera nti Muddeeyo, mmwe abaana b'abantu.
4 Kubanga emyaka olukumi mu maaso go Giri ng'olwajjo olwayita, Era ng'ekisisimuka ky'ekiro.
5 Obatwalira ddala nga mukoka; bali ng'otulo: Enkya bali ng'omuddo ogiunera.
6 Enkya guloka, gumera; Akawungeezi nga gusaliddwa, era nga guwotose.
7 obusungu bwo butumalawo, Era bw'onyiiga ne tweraliikirira.
8 Otadde obutali butuukirivu bwaffe mu musana gw'amaaso go, Ebibi byaffe eby'ekyama mu musana gw'amaaso go.
9 Kubanga ennaku zaffe zonna ziyita mu busungu bwo; Emyaka gyaffe giggwaawo ng'ekirowoozo.
10 Ennaku z'emyaka gyaffe gye myaka nsanvu, Era naye amaanyi gaweza emyaka ekinaana; Naye amalala gaabwe kwe kutegana n'okunakuwala kwereere; Kubanga gayita mangu, naffe ne tubula.
11 Ani amanyi obuyinza obw'obusungu bwo, N'okunyiiga nga bw'ogwanira okutiibwa?
12 Otuyigirize tubalenga bwe tutyo ennaku zaffe, Tulyoke tufune omutima omugezigezi.
13 Okomewo, ai Mukama; olituusa wa? Era wejjuse mu bigambo eby'abaddu bo.
14 Otukkuse enkya n'okusaasira kwo; Tusanyukenga, tujaguzenga, ennaku zaffe zonna.
15 Otusanyuse ng'ennaku bwe ziri ze watubonyaabonyezangamu Era ng'emyaka bwe giri gye twalabirangamu obubi.
16 Omulimu gwo gulabikirenga abaddu bo, N'ekitiibwa kyo kirabikenga ku baana baabwe.
17 Era n'obulungi bwa Mukama Katonda waffe bubeerenga ku ffe: Era otunywerezenga emirimu gy'emikono gyaffe.