Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Zabbuli Psalms

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66 67 68 69 70 71 72 73 74 75 76 77 78 79 80 81 82 83 84 85 86 87 88 89 90 91 92 93 94 95 96 97 98 99 100 101 102 103 104 105 106 107 108 109 110 111 112 113 114 115 116 117 118 119 120 121 122 123 124 125 126 127 128 129 130 131 132 133 134 135 136 137 138 139 140 141 142 143 144 145 146 147 148 149 150
1 Omutima gwange gujjudde musera ekigambo ekirtmgi: Njogera ebigambo bye mpandiise bya kabaka: Olulimi lwange ye kkalaamu ey'omuwandiisi omwangu.
2 Ggwe osinga abaana b'abantu obulungi; Ekisa kifukiddwa ku mimwa gyo: Katonda kyeyava akuwa omukisa emirembe gyonna.
3 Weesibe ekitala kyo mu kiwato kyo, ggwe ow'amaanyi. Kye kitiibwa kyo n'obukulu bwo.
4 Ne mu bukulu bwo weebagale owangule, Olw'amazima n'obuwombeefu n'obutuukirivu: N'omukono gwo ogwa ddyo gulikuyigiriza eby'entiisa.
5 Obusaale bwo bwa bwogi; Amawanga gagwa wansi mu maaso go; Buli mu mutima gw'abalabe ba kabaka.
6 Entebe yo, ai Katonda, ya lubeerera emirembe gyonna: Omuggo ogw'obutuukirivu gwe muggo ogw'obwakabaka bwo.
7 Wayagala obutuukirivu, wakyawa obubi: Katonda, Katonda wo, kyavudde akuteekako Amafuta ag'essanyu okusinga banno.
8 Ebyambalo byo byonna biwtmya kaloosa mooli ne akaloosi ne kasiya; Mu mayumba ag'amasanga ennanga zikusanyusizza.
9 Mu bakyala bo mulimu abambejja: Ku mukono gwo ogwa ddyo kaddulubaale ayimirira ng'ayambadde zaabu ya Ofiri.
10 Wulira, omuwala, olowooze, otege okutu kwo; Era weerabire ekika kyammwe, n'ennyumba ya kitaawo;
11 Bw'atyo kabaka anaayagalanga obulungi bwo: Kubanga ye Mukama wo; era omusinze.
12 N'omuwala wa Ttuulo alijja n'ekirabo; Era n'abagagga ab'omu bantu balikwegayirira ekisa kyo.
13 Omuwala wa kabaka munda mu lubiri wa kitiibwa kyereere: Olugoye lwe lukoleddwamu ne zaabu.
14 Anaaleetebwa eri kabaka ng'ayambadde eby'amabala: Bawala banne abamugoberera Banaaleetebwa gy'oli.
15 Banaaleetebwa n'okusanyuka n'okujaguza: Banaayingira mu nnyuriba ya kabaka.
16 Awali bakitaawo wanaabeeranga abaana bo, B'olifuula abalangira mu nsi zonna.
17 Najjukizanga erinnya lyo emirembe gyonna: Amawanga kyeganaavanga kwebaza emirembe n'emirembe.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]