1 Neebazanga Mukama mu biro byonna: Ettendo lye liri mu kamwa kange bulijjo.
2 Emmeeme yange eneenyumiririzanga mu Mukama: Abawombeefu baliwulira, balisanyuka.
3 Mumukuze Mukama wamu nange, Tugulumize erinnya lye fenna.
4 Nanoonya Mukama, n'anziramu, N'andokola mu kutya kwange kwonna.
5 Baamutunuulira, ne balaba omusana: Era amaaso gaabwe tegaakwatibwenga nsonyi emirembe gyonna.
6 Omunaku ono yakoowoola, Mukama n'amuwulira, N'amulokola mu nnaku ze zonna.
7 Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamurya, N'abalokola.
8 Mulege mutegeere Mukama nga mulungi: Aweereddwa omukisa oyo amwesiga.
9 Mutyenga Mukama, mmwe abatukuvu be: Kubanga tebabulwa kintu abamutya.
10 Obwana bw'empologoma bubulwa ne bulumwa enjala: Naye abanoonya Mukama tebaabulwenga kintu kirungi kyonna.
11 Mujje, mmwe abaana abato, mumpulire: Naabayigirizanga okutya Mukama.
12 Muntu ki ayagala obulamu, Era eyeegomba ennaku (ennyingi), alyoke alabe obulungi?
13 Ziyizanga olulimi lwo mu bubi, N'emimwa gyo obutoogeranga bukuusa.
14 Va mu bubi, okolenga obulungi; Noonyanga emirembe, ogigobererenga.
15 Amaaso ga Mukama galaba abatuukirivu, N'amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.
16 Obwenyi bwa Mnkama buba ku abo abakola obubi, Amalemu okujjukirwa kwabwe mu nsi.
17 Abatuukirivu baakoowoola, Mukama n'awulira, N'abalokola mu nnaku zaabwe zonna.
18 Mukama ali kumpi n'abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.
19 Ebibonoobono eby'omutuukirivu bye bingi: Naye Mukama amulokola mu byonna.
20 Akuuma amagumba ge gonna: Linnaago erimu terimenyeka.
21 Obubi bulitta omubi: N'abo abakyawa omutuukirivu balisingibwa omusango.
22 Mukama anunula emmeeme y'abaddu be: So tewali mu bo abamwesiga alisingibwa omusango.