1 Mukama, ojjuukirire Dawudi Okubonaabona kwe kwonna.
2 Bwe yalayirira Mukama, Ne yeeyama Omuzira wa Yakobo:
3 Mazima siriyingira mu weema ey'ennyumba yange, So siririnnya ku kiriri kyange;
4 Siriwa amaaso gange okwebaka, Newakubadde enkowekowe zange Otulo;
5 Okutuusa lwe ndimulabira Mukama ekifo, Eweema ey'Omuzira wa Yakobo.
6 Laba, twagiwulirako mu Efulasa: Twagiraba mu nnimiro ey'ekibira.
7 Tuliyingira mu weema ze; Tulisinziza awali entebe y'ebigere bye.
8 Golokoka, ai Mukama, oyingire mu kifo kyo eky'okuwummuliramu; Ggwe, n'essanduuko ey'amaanyi go.
9 Bakabona bo bambale obutuukirivu; N'abatukuvu bo boogerere waggulu olw'essanyu.
10 Ku lw'omuddu wo Dawudi Togoba maaso g'oyo gwe wafukako amafuta.
11 Mukama yalayirira Dawudi mu mazima; Talikyuka kugaleka: Ku bibala eby'omubiri gwo nditeeka ku ntebe yo.
12 Abaana bo bwe banakkirizanga okwekuuma endagaano yange N'obujulirwa bwange bwe nnaabayigirizanga, Era n'abaana baabwe banastuulanga ku ntebe yo emirembe gyonna.
13 Kubanga Mukama yeeroboza Sayuuni; Yakiyaayaanira okukituulamu.
14 Kino kye kifo kye mpummuliramu ennaku zonna: Wano we nnaatuulanga; kubanga nayaayaanirawo.
15 Naskiwanga omukisa muagi ekyengera kyakyo: Nakkusanga abaavu baakyo emmere.
16 Era ne bakabona baakyo ndibambaza obulokozi: N'abatukuvu baakyo balyogerera waggulu olw'essanyu.
17 Eyo gye ndyanyisiza ejjembe lya Dawudi: Namuteekerawo ettabaaza eyo gwe nnafukako amafuta.
18 Abalabe be ndibambaza ensonyi: Naye ku mutwe gwe engule ye eriraba omukisa.