Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Zabbuli Psalms

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66 67 68 69 70 71 72 73 74 75 76 77 78 79 80 81 82 83 84 85 86 87 88 89 90 91 92 93 94 95 96 97 98 99 100 101 102 103 104 105 106 107 108 109 110 111 112 113 114 115 116 117 118 119 120 121 122 123 124 125 126 127 128 129 130 131 132 133 134 135 136 137 138 139 140 141 142 143 144 145 146 147 148 149 150
1 Onsalire omusango, ai Katonda, era ompolereze ensonga eri eggwanga eritatya Katonda: Ondokole eri omuntu ow'obulimba atali mutuukirivu.
2 Kubanga ggwe oli Katonda wa maanyi gange; kiki ekikunsuuzizza ewala? Lwaki nze okugenda nga nkaaba olw'okujooga kw'omulabe?
3 Kale otume omusana gwo n'amazima go; ebyo binnuŋŋamye: Bindeete ku lusozi lwo olutukuvu, Ne mu weema zo.
4 Ne ndyoka ŋŋenda ku kyoto kya Katonda, Eri Katonda essanyu lyange eritasingika; Ne ku nnanga ndikutendereza, ai Katonda, Katonda wange.
5 Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange? Kiki ekikweraliildriza munda yange? Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza, Bwe bulamu obw'amaaso gange; era Katonda wange.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]