Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Zabbuli Psalms

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66 67 68 69 70 71 72 73 74 75 76 77 78 79 80 81 82 83 84 85 86 87 88 89 90 91 92 93 94 95 96 97 98 99 100 101 102 103 104 105 106 107 108 109 110 111 112 113 114 115 116 117 118 119 120 121 122 123 124 125 126 127 128 129 130 131 132 133 134 135 136 137 138 139 140 141 142 143 144 145 146 147 148 149 150
1 Neebazanga Mukama n'omutima gwange gwonna; Naayolesanga ebikolwa byo eby'ekitalo byonna.
2 Naasanyukanga naajagulizanga mu ggwe: Naayimbanga okutendereza erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo.
3 Abalabe bange bwe badda ennyuBeesittala ne bazikirira mu maaso go.
4 Kubanga ggwe. wayamba ensonga yange n'ebigambo byange; Watuula ku ntebe, ng'osala omusango ogw'ensonga.
5 Waboggolera amawanga, wazikiriza ababi, Wasangula erinnya lyabwe emirembe n'emirembe.
6 Abalabe baweddewo, baviibwamu emirembe egitaggwaawo; N'ebibuga bye wamenya. Era n'ekijjukizo kyabyo kizikiridde.
7 Naye Mukama abeererawo emirembe egitaggwaawo: Ateeseteese entebe ye okusala omusango.
8 Naye alisala omusango ogw'ensi zonna mu butuukirivu, Aliwa omusango amawanga mu mazima.
9 Era Mukama anaabeeranga kigo ekiwanw eri abayigganyizibwa, Ekigo ekiwanvu mu biro eby'ennaku;
10 N'abo abamanyi erinnya lyo baneesiganga ggwe; Kubanga ggwe, Mukama, tonnabaleka abakunoonya.
11 Muyimbe okutendereza Mukama, atuula mu Sayuuni: Mubuulire ebikolwa bye mu bantu.
12 Kubanga oyo avunaana omusaayi abajjukira: Teyeerabira kukaaba kw'abaavu.
13 Onsaasire, ai Mukama; Laba okubonaabona kwange kwe bankola abankyaye, Ggwe annyimusa ku miryango egy'olumbe;
14 Ndyoke njolesenga ettendo lyo lyonna: Mu miryango egy'omuwala wa Sayuuni Naasanyukiranga obulokozi bwo.
15 Amawanga gagudde mu bunnya bwe baasima: Mu kyambika kye baatega ekigere kyabwe mwelukwatiddwa:
16 Mukama yeetegeezezza, atuukirizza omusango: Omubi akwatibwa mu mirimu gy'emikono gye. (Kiggayoni. Seera
17 Ababi balidda mu magombe. Ge mawanga gonna ageerabira Katonda.
18 Kubanga abaavu tebeerabirwenga ennaku zonna, So essuubi ery'abawombeefu teriibulenga emirembe gyonna.
19 Golokoka, ai Mukama; abantu balemenga okuwangula: Amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.
20 Obatiise, ai Mukama: Amawanga geetekeere nga bantu buntu. (Seera)

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]