Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Zabbuli Psalms

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66 67 68 69 70 71 72 73 74 75 76 77 78 79 80 81 82 83 84 85 86 87 88 89 90 91 92 93 94 95 96 97 98 99 100 101 102 103 104 105 106 107 108 109 110 111 112 113 114 115 116 117 118 119 120 121 122 123 124 125 126 127 128 129 130 131 132 133 134 135 136 137 138 139 140 141 142 143 144 145 146 147 148 149 150
1 Ai Katonda, ggwe oli Katonda wange; naakeeranga okukunoonya Emmeeme yange erumwa ennyonta eri ggwe, omubiri gwange gwegomba ggwe, Mu nsi enkalu ekooyesa, omutali mazzi.
2 Bwe ntyo bwe nnakutunuulira_ nga mu watukuvu, Okulaba obuyinza bwo n'ekitiibwa kyo.
3 Kubanga ekisa kyo kiwooma okusinga obulamu; Emimwa gyange ginaakutenderezanga.
4 Bwe ntyo bwe nnaakwebazanga nga nkyali mulamu: Naayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
5 Emmeeme yange enekkusibwanga ag'obusomyo n'amasavu; N'akamwa kange kanaakutenderezanga n'emimwa egisanyuka;
6 Bwe nnaakujjuukiriranga ku kitanda kyange, Bwe nnaakulowoolezanga mu bisisimuka eby'ekiro.
7 Kubanga wabeera mubeezi wange, Era mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo mwe nnaasanyukiranga.
8 Emmeeme yange efuga okukugoberera: Omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.
9 Naye abo abanoonya emmeeme yange okugizikiriza, Baligenda wansi w'ettaka.
10 Baliweebwayo eri amaanyi ag'ekitala: Balibeera mugabo gwa bibe.
11 Naye kabaka alisanyukira Katonda: Buli amulayira ye alyenyumiriza; Kubanga akamwa k'abo aboogera eby'obulimba kalizibibwa.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]