1 Ai Katonda, amawanga gazze mu busika bwo; Boonoonye yeekaalu yo entukuvu; Basudde Yerusaalemi entuumo n'entuumo.
2 Emirambo gy'abaddu bo bagiwaddeyo okuba emmere y'ennyonyi eza waggulu, Emibiri gy'abatukuvu bo eri ensolo z'oku nsi.
3 Omusaayi gwabwe bagufuse ng'amazzi okwetooloola Yerusaalemi: Ne wataba muntu wa kubaziika.
4 Tufuuse ekiwme eri baliraanwa baffe, Okuduulirwa n'okusekererwa eri abo abatwetoolodde.
5 Ai Mukama, olituusa wa okusunguwala emirembe gyonna? Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng'omuliro?
6 Fuka obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi, Ne ku bwakabaka obutakoowoola linnya lyo.
7 Kubanga balidde Yakobo, Ne bazisa ekifo kye.
8 Tojjukira gye tuli obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe: Okusaasira kwo okulungi kwanguwe okutukulemberanga: Kubanga tujeezebwa nnyo.
9 Otuyambe, ai Katonda ow'obulokozi bwaffe, olw'ekitiibwa ky'erinnya lyo: Era otuwonye, onaalize ddala ebibi byaffe, olw'erinnya lyo.
10 Ab'amawanga ekiriba kiboogeza kiki nti Katonda waabwe ali ludda wa? Eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu bo oguyiika
11 Okusinda kw'omusibe kujje mu maaso go; Ng'obuyinza bwo bwe buli obungi owonye abo abateekerwawo okufa;
12 Era owalane baliraanwa baffe emirundi musanw mu kifuba kyabwe Ekiwme kye baakuwma ggwe, ai Mukama.
13 Naffe abantu bo era endiga ez'ettale lyo Tunaakwebazanga ennaku zonna: Tunaayolesanga ettendo lyo okutuusa emirembe gyonna.