Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Zabbuli Psalms

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66 67 68 69 70 71 72 73 74 75 76 77 78 79 80 81 82 83 84 85 86 87 88 89 90 91 92 93 94 95 96 97 98 99 100 101 102 103 104 105 106 107 108 109 110 111 112 113 114 115 116 117 118 119 120 121 122 123 124 125 126 127 128 129 130 131 132 133 134 135 136 137 138 139 140 141 142 143 144 145 146 147 148 149 150

1 Mukama, kubanga awulidde Eddoboozi lyange n'okwegayirira kwange.
2 Kubanga antegedde okutu, Kyennaavanga mmukoowoola nga nkyali mulamu.
3 Emigwa egy'okufa gyansiba. N'okulumwa kw'emagombe kwankwata: Ne ndaba ennaku n'okutegana.
4 Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama; Nti Ai Mukama, nkwegayiridde, omponye emmeeme yange.
5 Mukama wa kisa, era mutuukirivu; Weewaawo, Katonda waffe alina okusaasira.
6 Mukama akuuma abo abatalina nkwe: Najeezebwa, n'andokola.
7 Komawo mu kiwummulo kyo, ggwe emmeeme yange; Kubanga Mukama akukoledde eby'ekisa ekingi.
8 Kubanga omponyezza emmeeme yange okufa, Amaaso gange obutakaaba maziga, N'ebigere byange obutagwa.
9 Naatambuliranga mu maaso ga Mukama Mu nsi y'abalamu.
10 Nzikiriza, kubanga ndyogera: Nabonyaabonyezebwa nnyo:
11 Ne njogera nga nnyanguwa Nti Abantu bonna bulimba.
12 Kiki kye ndisasula Mukama Olw'ebirungi bye byonna eri nze?
13 Nditoola akakompe ak'obulokozi, Era ndikaabira erinnya lya Mukama.
14 Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama, Weewaawo, mu maaso g'abantu be bonna.
15 Okufa kw'abatukuvu be Kwa muwendo mungi mu maaso ga Mukama.
16 Ai Mukama, mazima nze ndi muddu wo: Nze ndi muddu wo, era omwana w'omuzaana wo; Osumuludde ebyansiba.
17 Ndikuwa ssaddaaka ey'okwebaza, Era ndikaabira erinnya lya Mukama.
18 Ndisasula obwepamo bwange eri Mukama, Weewaawo, mu maaso g'abantu be bonna;
19 Mu mpya z'ennyumba ya Mukma, Wakati mu ggwe, ggwe Yerusaalemi. Mumutendereze Mukama.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]