Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Zabbuli Psalms

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42 43 44 45 46 47 48 49 50 51 52 53 54 55 56 57 58 59 60 61 62 63 64 65 66 67 68 69 70 71 72 73 74 75 76 77 78 79 80 81 82 83 84 85 86 87 88 89 90 91 92 93 94 95 96 97 98 99 100 101 102 103 104 105 106 107 108 109 110 111 112 113 114 115 116 117 118 119 120 121 122 123 124 125 126 127 128 129 130 131 132 133 134 135 136 137 138 139 140 141 142 143 144 145 146 147 148 149 150
1 Wulira ebigambo byange, ai Mukama, Osseeyo omwoyo eri ebirowoozo byange.
2 Wulira eddoboozi ly'okukaaba kwange, Kabaka wange, era Katonda wange: Kubanga nkusaba ggwe.
3 Ai Mukama, buli akya onoo_wuliraaga eddoboozi lyange; Buli nkya naalongoosanga okusaba kwaage gy'oli, ne ntunula.
4 Kubanga toli Katonda asanyusibwa obubi: Ebitasaana tebiituulenga gy'oli.
5 Abeenyumiriza tebaayimirirenga mu maaso go: Okyawa bonna abakola, ebitali bituukirivu.
6 Olizikiriza aboogera. eby'obulimba: Mukama akyawa omuntu atta n'alimbalimba.
7 Naye ku lwange mu bungi bw'ekisa kyo naayingiranga mu nnyumba yo: Mu kukutya naasinzanga nga njolekera yeekaalu yo entukuvu.
8 Ontwale, ai Mukama, mu butuukirivu bwo olw'abalabe bange; Ongololere ekkubo lyo mu maaso gange.
9 Kubanga tewali bwesigwa mu mimwa gyabwe: Omwoyo gwabwe bubi busa: Omumiro gwabwe ye ntaana eyasaamiridde; Beegonza n'olulimi lwabwe.
10 Obasseeko omusango, ai Katonda; Bagwe olw'okuteesa kwabwe bo: Obasindike mu kwonoona kwabwe okungi; Kubanga bakujeemedde ggwe.
11 Naye bonna abeesiga ggwe basanyukenga, Bayoogaanenga mu ssanyu bulijjo, kubanga ggwe obakuuma: Era abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.
12 Kubanga oliwa omutuukirivu omukisa; Ai Mukama, olimwetoolooza ekisa ng'engabo.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]