1 Mukama, watunuulira ensi yo n'ekisa: Wazza obusibe bwa Yakobo.
2 Wasonyiwa obutali butuukirivu obw'abantu bo, Wabikka ku kibi kyabwe kyonna. (Seera)
3 Waggyawo obusungu bwo bwonna: Wakyuka n'oleka ekiruyi kyo ekikambwe:
4 Otukyuse, ai Katonda ow'obulokozi bwaffe. Era okunyiiga kwo kuggweewo eri ffe.
5 Onootuusunguwaliranga ennaku zonna? Onootuusanga obusungu bwo emirembe gyonna?
6 Tolituzuukiza nate, Abantu bo bakusanyukirenga ggwe?
7 Otulage okusaasira kwo, ai Mukama, Otuwe obulokozi bwo.
8 Ka mpulire Katonda Mukama by'anaayogera: Kubanga anaabuulira abantu be emirembe, n'abatukuvu be: Naye baleme okukyama nate mu busirusiru.
9 Mazima obulokozi bwe buba kumpi abo abamutya; Ekitiibwa kiryoke kituulenga mu nsi yaffe.
10 Okusaasira n'amazima birabaganye; Obutuukirivu n'emirembe binywegeraganye.
11 Amazima galose mu ttaka; N'obutuukirivu butunudde ku nsi nga buyima mu ggulu.
12 Weewaawo, Mukama anaagabanga ebirungi; N'ensi yaffe eneereetanga ekyengera kyayo.
13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga; Era bunaakubiranga ebigere bye ekkubo.