1 Ondokole mu balabe bange, ai Katonda wange: Ongulumize eri abo abangolokokerako.
2 Ondokole eri abo abakola obutali butuukirivu, Omponye eri abo abaagala omusaayi.
3 Kubanga, laba, bateega emmeeme yange; Ab'amaanyi bakuŋŋaana okunnumba: Si lwa kyonoono kyange, so si lwa kibi kyange, ai Mukama.
4 Baddukana, beeteekateeka nga sikoze bubi: Ozunkuke onnyambe, olabe.
5 Ggwe, ai Mukama Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, Ogolokoke obuulirire amawanga gonna: Tosaasiranga muntu yenna omwonoonyi omubi. (Seera)
6 Bakomawo akawungeezi, bakaaba ng'embwa, Beetooloola ekibuga.
7 Laba, beebajjagala n'akamwa kaabwe; Ebitala biri mu mimwa gyabwe: Kubanga boogera nti Ani awulira?
8 Naye ggwe, Mukama, olibasekerera; Oliduulira amawanga gonna.
9 Ai amaanyi gange, naakulindiriranga ggwe: Kubanga Katonda kye kigo kyange ekiwanvu.
10 Katonda ow'okusaasirwa kwange anankulemberanga: Katonda anandabyanga bye njagala nga bituuse ku balabe bange.
11 Tobatta, abantu bange baleme okwerabira: Obasaasaanye n'amaanyi go, obatoowaze, Ai Mukama engabo yaffe.
12 Olw'okwonoona kw'akamwa kaabwe, olw'ebigambo by'emimwa gyabwe, Bakwatibwe nga beenyumiriza, Era n'olw'okukolima n'obulimba bye boogera.
13 Obazikirize mu busungu, obazikirize, balemenga okubaawo nate: Era bategeerenga nga Katonda afugira mu Yakobo, Okutuuka ku nkomerero z'ensi. (Seera)
14 Era akawungeezi bakomewo, bakaabe ng'embwa, Beetooloole ekibuga.
15 Balitambulatambula nga banoonya emmere, Balikeesa obudde bwe batalikkuta.
16 Naye nze naayimbanga ku maanyi go; Weewaawo, naayimbiranga ddala ku kusaasira kwo enkya: Kubanga wali kigo kyange ekiwanvu, N'ekiddukiro ku lunaku olw'okutegana kwange.
17 Ggwe, ai amaanyi gange, gwe nnaayimbiranga okukutendereza: Kubanga Katonda kye kigo kyange ekiwanvu, Katonda wa kusaasirwa kwange.