Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

एस्तेर / Esther

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42
1 Emmeeme yange enyiye obulamu bwange; Naafukumula okwemulugunya kwange; Naayogeza kkabyo lya mmeeme Yange.
2 Naagamba Katonda nti Tonsalira musango okunsinga; Ntegeeza kyova owakana nange.
3 Okiyita kirungi ggwe okujooga, Okunyooma omulimu gw'engalo zo, N'oyakira okuteesa kw'ababi?
4 Olina amaaso ag'omubiri, Oba ggwe olaba ng'abantu bwe balaba?
5 Ennaku zo ziriŋŋanga ennaku ez'abantu, Oba emyaka gyo ng'ennaku ez'abantu,
6 N'okubuuza n'obuuza obutali butuukirivu bwange, N'onoonya okwonoona kwange,
7 Newakubadde ng'omanyi nga ssiri mubi; So tewali ayinza okuwonya mu mukono gwo?
8 Emikono gyo gye gyammumba, gye gyankola Wamu eruuyi n'eruuyi; naye onzikiriza.
9 Nkwegayiridde, jjukira nga wammumba ng'ettaka; Era olinziza nate mu nfuufu?
10 Tonzituludde ng'amata, N'onkwasa ng'amata amakalu?
11 Wannyambaza eddiba n'omubiri, Era wangatta wamu n'amagumba n'ebinywa.
12 Wampa obulamu n'okuganja, N'okujja kwo gye ndi kwe kwakuuma omwoyo gwange.
13 Era naye wakisa ebyo mu mutima gwo; Mmanyi ng'ekyo kiri naawe:
14 Bwe nnyonoona, kale oneetegereza, So tolinziyako butali butuukirivu bwange.
15 Bwe mba omubi, nga zinsanze; Era bwe mba omutuukirivu, era naye siriyimusa mutwe gwange; Nga nswaizibwa nnyo Era nga ntunuulira ennaku ze adaba.
16 Era omutwe gwange bwe gwegulumiza, onjigganya ng'empologoma: Era nate weeraga ow'ekitalo gye ndi.
17 Okomyawo buggya abajulirwa bo eri nze, N'onnyongerako okunyiiga kwo; Ebikyukakyuka n'obulwa biri nange.
18 Kale kiki ekyakunziyisa mu lubuto? Nanditadde omukka, so tewandibaddewo liiso eryandindabye:
19 Nandibadde ng'atabangawo; Nandisituliddwa okuva mu lubuto okuntwala mu ntaana.
20 Ennaku zange si ntono? Kale lekera awo, Ondeke nsanyusibweko katono,
21 Nga sinnagenda eyo gye ssiivenga kukomawo, Ye nsi ey'ekizikiza n'ey'ekisiikirize eky'okufa;
22 Ensi ey'ekizikiza ekikutte, ng'e. kizikiza kyennyini bwe kiri; Ensi ey'ekisiikirize eky'okuii awatali kuteekateeka, Era omusana gwayo gulinnanga ekizikiza.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]