Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

एस्तेर / Esther

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42
1 Awo Zofali Omunaamasi n'addamu n'ayogera nti
2 Ebirowoozo byange kyebiva binziramu, Olw'okwanguyiriza okuli mu nze.
3 Mpulidde okunenya okunswaza, Omwoyo ogw'okutegeera kwange ne gunziramu.
4 Ekyo tokimanyi obw'edda, Omuntu kasookedde ateekebwa ku ttaka,
5 Ng'okuwangula kw'ababi kwa kuggwaawo mangu, Era ng'essanyu ly'abatamanyi Katonda lya kiseera buseera?
6 Obukulu bwe newakubadde nga bulinnya okutuuka mu ggulu, N'omutwe gwe gutuuka mu bire;
7 Naye anaabulanga emirembe gyonna ng'empitambi ye ye: Abo abaamulabanga banaayogeranga nti Ali ludda wa?
8 Anaavangawo ng'ekirooto, so taalabikenga: Weewaawo, anaagoberwanga ddala ng'okwolesebwa okw'ekiro.
9 Eriiso eryamulabanga teriimulabenga nate; So n'ekifo kye tekiimutunuulirenga nate.
10 Abaana be baneegonzaaga eri abaavu, N'emikono gye ginaakomyangawo obugagga bwe.
11 Amagumba ge gajjudde obuvubuka bwe, Naye bunaagalamiranga naye mu nfuufu.
12 Obubi newakubadde nga bumuwoomera mu kamwa ke, Newakubadde ng'abukweka wansi w'olulimi lwe;
13 Newakubadde ng'abusonyiwa n'ataganya kubuta, Naye ng'akyaguguba nabwo mu kamwa ke;
14 Naye emmere ye mu byenda bye efuuse, Bwe busagwa bwe mbalasaasa munda ye.
15 Yamira obugagga, era anaabusesemanga nate: Katonda anaabuggyanga mu lubuto lwe.
16 Anaanuunanga obusagwa bw'embalasaasa: Olulimi lw'omusota lunaamuttanga.
17 Taatunuulirenga migga, Emigga egikulukuta egy'omubisi gw'enjuki n'omuzigo.
18 Kye yateganira anaakizzanga, so taakimirenga; So taasanyukenga ng'ebintu bwe biri by'afunye.
19 Kubanga yajooga abaavu n'abaleka; Yaggyawo ennyumba olw'amaanyi so taagizimbenga.
20 Kubanga teyamanya kutereera munda ye, Taawonyenga kintu ku ebyo by'asanyukira.
21 Tewasigala kintu ky'atalya; Omukisa gwe kyegunaavanga gulema okuba ogw'olubeerera.
22 Mu lufulube lw'ebintu bye ebisukkirira anaalabanga ennaku: Omukono gwa buli muntu aliko obuyinike gunaamutuukangako.
23 Bw'aba ng'anaatera okukkusa olubuto lwe, Katonda anaamusuulangako ekiruyi kye ekingi, Era anaakitonnyesanga ku ye ng'alya.
24 Anaddukanga ekyokulwanyisa eky'ekyuma, N'omutego ogw'ekikomo gunaamufumitanga.
25 Aguggyamu ne guva mu mubiri gwe: Weewaawo, omumwa gwagwo ogumasamasa guva mu mususa gwe; Ebitiisa bimuliko.
26 Ekizikiza kyonna kyaterekerwa ebibye eby'obugagga: Omuliro ogutakumibwa bantu gunaamwokyanga; Gunaamalangawo ebyo ebisigadde mu weema ye.
27 Eggulu linaabikkulanga ku butali butuukirivu bwe, N'ensi eneemugolokokerangako.
28 Ekyengera eky'omu nnyumba ye kinaavangawo, Ebintu bye binaabuliranga ku lunaku olw'obusungu bwe.
29 Ogwo gwe mugabo gw'omuntu omubi oguva eri Katonda, N'obusika Katonda bwe yamuteekerawo.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]