Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

एस्तेर / Esther

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42
1 Omuntu azaalibwa omukazi wa nnakku si nnyigi, era ajjude abuyinike.
2 Amulisa ng'ekimuli n'atemebwa: Era adduka ng'ekisiikirize so tabeerera.
3 Naawe omuzibulira amaaso go afaanana bw'atyo, N'ondeeta mu musango nze naawe?
4 Ani ayinza okuggya ekintu ekirongoofu mu kitali korongoofu? tewali n'omu.
5 Kubanga ennaku ze zaateesebwa, omuwendo gw'emyezi gye guli naawe, Era wamuteekerawo ensalo ze z'atayinza kusukkako;
6 Muggyeeko amaaso go awummule, Okutuusa lw'alimala olunaku lwe ng'akolera empeera.
7 Kubanga waliwo essuubi ery'omuti bwe gutemebwa nga guliroka nate, Era ng'ettabi lyagwo etto teririfa.
8 Ekikolo kyagwo newakubadde nga kikaddiwa mu ttaka, N'ekikonge kyagwo ne kifiira mu nsi;
9 Naye olw'akaloosa k'amazzi gulimulisa, Ne gusuula amatabi ng'ekisimbe.
10 Naye omuntu afa era ayongobera: Weewaawo, omuntu ata omukka, kale ali ludda wa?
11 Ng'amazzi bwe gaggweerera mu nnyanja, N'omugga nga bwe guggwaawo ne gukalira;
12 Bw'atyo n'omuntu agalamira n'atayimuka: Okuruusa eggulu lwe litalibaawo nate, tebalizuukuka, So tebalizuukuzibwa mu tulo twabwe.
13 Singa onkwese mu magombe, Singa onkisa kyama okutuusa obusungu bwo lwe buliyita, Singa onteekeddewo ekiseera ekiragiddwa, n'onjijukira!
14 Omuntu bw'afa aliba mulamu nate? Nandirindiridde ne mmala ennaku zonna ez'olutabaalo lwange, Okutuusa okuteebwa kwange lwe kwandizze.
15 Wandimpise, nange nandikuyitabye: Wandibadde n'okwegomba eri omulimu gw'emikono gyo.
16 Naye kaakano obala ebigere byange: Tolabirira kwonoona kwange?
17 Okusobya kwange kuteekeddwako akabonero mu nsawo, Era osibira ddala obutali butuukiriw bwange.
18 Era mamma olusozi olugwa luggwaawo, N'olwazi luggibwawo mu kifo kyalwo;
19 Amazzi gasiriiza amayinja; Okwaajaala kwago kufumbiikiriza enfuufu ey'oku nsi: Era ozikiriza essuubi ery'omuatu.
20 Ennaku zonna ag'omuwangula, n'ayitawo; Owaanyisa amaaso ge n'omusindika.
21 Batabani be batuuka mu kitubwa, ye nga takimanyi; Bakkakkanyizibwa, naye ye nga tategeera bwe bali.
22 Naye omubiri gwe oguli ku ye gulumwa, N'emmeeme ye eri munda ye enakuwala.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]