1 Awo Erifaazi Omutemani n'addamu n'ayogera nti
2 Omuntu ayinza okugasa Katonda? Mazima ow'amagezi yeegasa yekka.
3 Kiriko bwe kisanyusa Omuyinza w'ebintu byonna ggwe okubeera omutuukirivu? Oba kimugasa ggwe okutuukiriza amakubo go?
4 Kubanga omutya kyava akunenya, Kyava asala omusango gwo?
5 Obubi bwo si bungi? So n'obutali butuukirivu bwo tebuliiko gye bukoma.
6 Kubanga waggya ku muganda wo emisingo egy'obwereere, N'oyambula abaali obwereere ebyamhalo byabwe.
7 Tonywesanga mazzi omukoowu, Era wamma omuyala emmere.
8 Naye ow'amaanyi ye yalya ensi; N'ow'ekitiibwa ye yagibeeramu.
9 Wasindika bannammwandu nga tebalina kintu, N'emikono gy'abatalina kitaabwe gyamenyeka.
10 Obukunizo kyebuva bukwetooloola, N'entiisa gy'otomanyiridde ekweraliikiriza,
11 Oba ekizikiza n'otoyinza kulaba, Amazzi amangi ne gakubikkako.
12 Katonda tali mu ggulu awagulumizibwa? Era laba emmunyeenye bwe zenkana obugulumivu!
13 Naawe oyogera nti Katonda amanyi ki? Ayinza okusala omusango ng'ayima mu kizikiza ekikutte?
14 Ebire ebiziyivu bimubikkako n'okulaba talaba; Era atambulira mu kwekulungirira kw'eggulu.
15 Oyagala okukwata ekkubo ery'edda Abantu ababi bye baalinnyirangamu?
16 Abaakwakulibwa entuuko zaabwe nga tezinnabaawo, Omusingi gwabwe ne gufukibwa ng'omugga:
17 Abaagambanga Katonda nti Tuveeko: Era nti Omuyinza w'ebintu byonna ayinza kutukolera ki?
18 Naye yajjuza ennyumba zaabwe ebirungi: Naye okuteesa kw'ababi kundi wala.
19 Abatuukirivu bakiraba ne basanyuka; N'ataliiko musango abasekerera nnyo:
20 Ng'ayogera nti Mazima abo abaatugolokokerako bamaliddwawo, N'abo abafisseewo omuliro gubookezza.
21 Yiga nno obeere n'emirembe: Bw'otyo bw'onoobanga n'ebirungi.
22 Nkwegayiridde, kkiriza amateeka eri akamwa ke, Era tereka ebigambo bye mu mutima gwo.
23 Bw'onookomangawo eri Omuyinza w'ebintu byonna, onoozimbibwanga; Bw'onoggyangawo obutali butuukirivu okuba ewala n'eweema zo.
24 N'oteeka ebibyo eby'obugagga mu nfuufu, Ne zaabu eya Ofiri mu mayinja ag'omu bugga;
25 Kale Omuyinza w'ebintu byonna ye anaabanga obugagga bwo, Era anaabanga ffeeza ya muwendo mungi gy'oli.
26 Kubanga lw'onoosanyukiranga Omuyinza w'ebintu byonna, Era onooyimusanga amaaso go eri Katonda.
27 Onoesabanga okusaba kwo eri ye, naye anaakuwuliranga; Era onoosasulanga obweyamobwo.
28 Era onoolagiranga ekigambo ne kinywera gy'oli; N'omusana gunaayakiranga amakubo go.
29 Bwe bakusuula, onooyogeranga nti Waliwo okuyimusibwa; Era anaalokolanga eyeetoowaza.
30 Anaawonyanga n'oyo aba taliiko musango: Weewaawo, anaawonyezebwanga olw'obulongoofu bw'engalo zo.