Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

एस्तेर / Esther

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42
1 Awo Erifaazi Omutemani n'addamu n'ayogera nti
2 Omuntu bw'anaagezaako okwogera naawe, onoonyiiga? Naye ani ayinza okuzibiikiriza obutayogera?
3 Laba, wayigirizanga bangi, Era wanywezanga emikono eminafu.
4 Ebigambo byo byamuwaniriranga oyo eyali agudde, Era wawanga amaanyi amaviivi agaddirira.
5 Naye kaakano kituuse gy'oli n'ozirika; Kikukomako ne weeraliikirira.
6 Okutya kwo Katonda si bwe bwesige bwo, N'amakubo go amagolokofu si kwe kusuubira kwo?
7 Nkwegayiridde, jjukira, ani eyali abuze nga taliiko musango? Oba abatuukirivu baali bamaliddwawo wa?
8 Nga bwe nnalaba, abo abakabala obujeemu, Ne basiga obuyinike, era bye bakungula.
9 Bazikirira olw'omukka gwa Katonda, Era bamalibwawo olw'okuwuuma kw'obusungu bwe.
10 Okuwuluguma kw'empologoma n'eddoboozi ly'empologoma enkambwe, N'amannyo g'empologoma ento gamenyeka.
11 Empologoma enkulu efa omuyiggo nga gugibuze, N'abaana b'empologoma ne basaasaana.
12 Kale ekigambo kyandeeterwa kyama, N'okutu kwange ne kutoola okuwuuma kwakyo.
13 Mu kulowooza okuva mu kwolesebwa okw'ekiro, Otulo otungi bwe tukwata abantu.
14 Entiisa n'enkwata n'okukankana, Amagumba gange gonna n'okunyegenya ne ganyegenya.
15 Awo omwoyo ne guyita ku maaso gange; Enviiri ez'omubiri gwange ne zinva ku mutwe.
16 Gwayimirira buyimirizi, naye ne siyinza kwetegereza bwe gufaanana; Ekifaananyi kyali mu maaso gange: Waaliwo okusirika, ne mpulira eddoboozi eryogera nti
17 Omuntu afa alisinga Katonda obutuukirivu? Omuntu aliba mulongoofu okukira eyamukola?
18 Laba, teyeesiga baddu be; Ne bamalayika be abalanga obusirusiru:
19 T'alisinga nnyo kubanga abo abasula mu nnyumba ez'ettala, Omusingi gwabwe guli mu nfuufu, Ababetentebwa okusooka ekiwojjolo!
20 Bazikiririra mu kiseera ekiri wakati w'enkya n'akawungeezi: Babula emirembe gyonna nga tewali akissaako mwoyo.
21 Omugwa gwabwe ogw'eweema tegusimbulwa munda yaabwe? Bafa, era awatali magezi.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]