1 Awo Yobu n'aleeta nate olugero lwe n’ayogera nti
2 Nga Katonda bw'ali omulamu alidde ensonga yange; Era Omuyinza w'ebintu byonna, eyeeraliikiriza emmeeme yange;
3 (Kubanga obulamu bwange bukyali bulamba mu nze, n'omwoyo gwa Katonda guli mu nnyindo zange;)
4 Mazima emimwa gyange tegyogere butali butuukirivu, So n'olulimi lwange terwatule bulimba.
5 Katonda akiddize eri nze okubawa obutuukirivu: Okutuusa lwe ndifa ssiryeggyako obugolokofu bwange.
6 Obutuukirivu bwange mbunyweza so ssiibutenga: Omutima gwange tegunnenyenga nga nkyali mulamu.
7 Omulabe wange abe ng'omubi. N'oyo angolokokerako abe ng'atali mutuukirivu.
8 Kubanga essuubi ly'atamanyi Katonda kye ki, newakubadde nga yeefunira amagoba, Katonda bw'aggyawo obulamu bwe?
9 Katonda anaawuliranga okukaaba kwe, Ennaku bwe zinaamutuukangako?
10 Anaasanyukiranga Omuyinza w'ebintu byonna, N'akaabira Katonda mu biro byonna?
11 N'abayigiriza eby'omukono gwa Katonda; Ekiri n'Omuyinza w'ebintu byonna ssiikikweke.
12 Laba, mmwe mwenna mmwe bennyini mukirabye; Kale kiki ekyabafuulira ddala abataliiko kye mugasa?
13 Guno gwe mugabo gw'omuntu omubi eri Katonda, N'obusika, bw'abajoozi bwe baweebwa Omuyinza w'ebintu byonna.
14 Abaana be bwe beeyongera, beeyongerera ekitala; N'enda ye terikkuta mmere.
15 Abanaasigalangawo ku ye banaaziikibwanga mu kufa, ne bannamwandu be tebaakungubagenga.
16 Newakubadde ng'atuuma ffeeza ng'enfuufu, n'ategeka ebyambalo ng'ettaka;
17 Okutegeka ayinza okubitegeka, naye omutuukirivu ye alikyambala, Era ataliiko musango ye aligabana ffeeza.
18 Azimba ennyumba ye ng'ekiwojjolo, Era ng'ensiisira omukuumi gy'akola.
19 Agalamira nga mugagga, naye taakungulwenga; Azibula amaaso, kale nga takyaliwo.
20 Ebitiisa bimukwata ng'amazzi; Kibuyaga amutwala kyama kiro.
21 Embuyaga ez'ebuvanjuba zimutwalira ddala n'agenda; Ne zimuggya mu kifo kye lwa maanyi.
22 Kubanga Katonda alimukasuukirira n'atasaasira: Yandyagadde okudduka mu mukono gwe.
23 Abantu balimukubira mu ngalo, Era balimusooza ave mu kifo kye.