Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

एस्तेर / Esther

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42
1 Awo Zofali Omunaamasi n'addamu n'ayogera nti
2 Olufulube lw'ebigambo terugwana kuluddamu? N'omuntu omwogeziyogezi agwana okumuwa obutuukirivu?
3 Okwenyumiriza kwo kwandisirisizza abantu? Era bw'oduula, tewaabeewo anaakukwasa ensonyi?
4 Kubanga oyogera nti Okuyigiriza kwange kulongoofu, Nange ndi mulungi mu maaso go.
5 Naye Katonda singa ayogedde, N'ayasamya emimwa gye eri ggwe:
6 Era singa akwolesezza ebyama eby'amagezi, Nga ga ngeri nnyingi mu kukola okw'amaanyi! Kale tegeera Katonda ng'akutaatira so si ng'obutali butuukirivu bwo bwe bwasaanira.
7 Oyinza okulaba Katonda olw'okunoonya? Oyinza okulaba Omuyinza w'ebintu byonna n'omumalayo?
8 Kyenkana eggulu obugulumivu; oyinza kukola ki? Kisinga amagombe okugenda wansi; oyinza kumanya ki?
9 Ekigero kyakwo kisinga ensi obuwanvu, Era kisinga ennyanja obugazi:
10 Bw'anaayitamu n'asiba abantu, N'abayita okujja okusalirwa omusango, kale ani ayinza okumuziyiza?
11 Kubanga amanyi abantu abataliiko kye bagasa: Era alaba n'obutali butuukirivu newakubadde nga tabulowooza.
12 Naye omuntu ataliiko ky'agasa talina kutegeera, Weewaawo, abantu bazaalibwa ng'omwana w'entulege.
13 Bw'onooteekateekanga obulungi omutima gwo, N'ogololanga emikono gyo eri ye;
14 Obujeemu oba nga buli mu mukono gwo, buteekenga wala, So n'obutali butuukirivu bulemenga okubeera mu weema zo;
15 Kale toolemenga kuyimusa maaso go awatali bbala; Weewaawo, onootereeranga so tootyenga:
16 Kubanga oneerabiranga ennaku ze walaba; Onoozijjukiranga ng’amazzi agayiseewo:
17 N'obulamu bwo bunaatangalanga okusinga ettuntu; Newakubadde nga waliwo ekizikiza, bunaabanga ng’obw'enkya.
18 Naawe onoobanga mirembe, kubanga essuubi weeriri; Weewaawo, onoomagamaganga n'owummula mirembe.
19 Era onoogalamiranga so tewaabenga anaakutiisanga; Weewaawo, bangi abanaakwegayiriranga.
20 Naye amaaso g'ababi ganaggwangawo, N’obuddukiro bunaababulanga, N'essuubi lyabwe linaabanga kuta mukka.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]