1 Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'ayogera nti
2 Mulituusa wa okuteega ebigambo? Musooke okulowooza, ne tulyoka twogera.
3 Ekiruyisa ensolo kiki, Ne tufuuka abatali balongoofu mu maaso go?
4 Ggwe eyeetaagula olw'obusungu Ensi erirekebwa ku lulwo? Oba olwazi luliggibwa mu kifo kyalwo?
5 Weewaawo, omumuli gw'omubi gunaazikizibwanga, So n'olusasi olw'omuliro gwe terwakenga.
6 Omumuli gunaabanga kizikiza mu weema ye, N'ettabaaza ye eri waggulu we eneezaamizibwanga.
7 Ebigere eby'amaanyi ge binaafundikirwanga, N'okuteesa kwe ye kunaamusuulanga.
8 Kubanga ebigere bye ye bimusudde mu kitimba, Era atambulira ku mutego.
9 Ekyambika kinaamukwatanga ekisinziiro, N'akakunizo kinaamunywezanga.
10 Akamasu kamukwekeddwa mu ttaka, N'ekigu kimukwekeddwa mu kkubo.
11 Entiisa eneemukanga enjuyi zonna, Era eneemuyigganyanga ku bisinziiro bye.
12 Amaanyi ge ganaalumwanga enjala, N'obuyinike bunaamubangako ng'asejjera.
13 Bunaalyanga ebitundu by'omubiri gwe, Weewaawo, omubereberye w'okufa anaalyanga ebitundu bye.
14 Anaasimbulwanga mu weema ye gye yeesiga; Era anaaleetebwanga eri kabaka w'ebitiisa.
15 Ekitali kikye n'akatono kinaabanga mu weema ye: Ekibiriiti kinaamansirwanga ku kifo mwe yabeeranga,
16 Ekikolo kye kinaakaliranga ddala wansi, Ne waggulu ettabi lye linaatemebwangawo.
17 Ekijjukizo kye kinaabulanga ku nsi, So taabenga na linnya mu luguudo.
18 Anaagoberwanga mu kizikiza okuva mu musana, Era anaayigganyizibwanga okuva mu nsi.
19 Taabenga na mwana newakubadde omuzzukulu mu bantu be, Newakubadde omuntu yenna asigadde gye yabeeranga.
20 Abanaddangawo baneewuunyanga olunaku lwe, Ng'abo abaasooka bwe baatiisibwa.
21 Mazima ennyumba z'atali mutuukirivu bwe zifaanana bwe zityo, Era kino kye kifo ky'oyo atamanyi Katonda.