1 Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'ayogera nti
2 Olituusa wa okwogera ebyo? Era ebigambo eby'omu kamwa ko birituusa wa okuba ng'empewo ey'amaanyi?
3 Katonda anyoola omusango? Oba Omuyinza w'ebintu byonna anyoola ensonga?
4 Abaana bo oba nga baamwanoona, Ye n'abagabula mu mukono gw'okusobya kwabwe:
5 Bw'onokkiriza okunoonyeza ddala Katonda, Ne weegayirira Omuyinza w'ebintu byonna;
6 Singa obadde mulongoofu era wa mazima; Teyandiremye nno okukuzuukukira, N'awa omukisa ekifo omubeera obutuukirivu bwo.
7 Okusooka kwo newakubadde nga kwali kutono, Naye enkomerero yo ey'oluvannyuma yandyeyongedde nnyo.
8 Kubanga buuza ab'emirembe egyasooka, nkwegayiridde, Okenneenye ebyo bajjajjaabwe bye baanoonyeza ddala:
9 (Kubanga tuli ba jjo, so tetuliiko kye tumanyi, Kubanga ennaku zaffe ze tumala ku nsi kisiikirize:)
10 Bo tebaliknyigiriza ne bakubuulira, Ne boogera ebigambo ebiva mu mutima gwabwe?
11 Ekitoogo kiyinza okukula awatali bitosi? Olulago luyinza okumera awatali mazzi?
12 Nga lukyali lubisi nga terunnatemebwa. Luwotoka okusooka omuddo omulala gwonna.
13 Bwe gatyo bwe gabeera amakubo ga bonna abeerabira Katonda; N'essuubi ly'oyo atatya Katonda binaabulanga:
14 Obwesige bwe bunaakutukanga, N'ekyo kye yeesiga ngoye za nnabbubi.
15 Aneesigamanga ku nnyumba ye, naye teeyimirirenga: Anaaginywererangako, naye teegumenga.
16 Ayerera mu maaso g'enjuba, N'amalagala ge galanda okubuna olusuku lwe.
17 Emmizi gye gikwata ku kifunvu, Alaba ekifo eky'amayinja.
18 Bw'anaazikirizibwanga okuva mu kifo kye, Awo kinaamwegaananga nga kyogera nti Sikulabangako.
19 Laba, eryo lye ssanyu ery'ekkubo lye, N'abalala baliroka okuva mu ttaka.
20 Laba, Katonda taasuulenga muntu eyatuukirira. So taawanirirenga abo abakola obubi.
21 Bw'alimala alijjuza akamwa ko enseko, N’emimwa gyo okwogerera waggulu.
22 Abakukyawa balyambala ensonyi; N’eweema ey’ababi teribaawo nate.