Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

एस्तेर / Esther

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42
1 Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2 Atalina buyinza ng'omubedde so! Omukono ogutalina maanyi ag'ogulokodde so!
3 Atalina magezi ag’omuweeredde so, N'oyatula bingi nnyo eby'okutegeera obulungi!
4 Ani gw'obuulidde ebigambo? N'omwoyo gwani oguwdde mu ggwe?
5 Abaafa bakankana wansi w'amazzi n'ababeera omwo.
6 Amagombe gali bwereere mu maaso ge, N'okuzikirira tekulina kye kwebikka.
7 Abamba obukiika obwa kkono mu bbanga ejjereere, Era awanika ensi awatali kintu.
8 Asiba amazzi mu bire bye ebiziyivu; Ekire ne kitayulika wansi we.
9 Aziba obwenyi bw'entebe ye, N'agyaliirako ekire kye.
10 Yassaawo embibi ku maaso g'amazzi, Okutuusa omusana n'ekizikiza we bikoma.
11 Empagi ez'eggulu zikankana ne zeewuunya olw'okunenya kwe.
12 Afuukuula ennyanja olw'obuyinza bwe, Era afumitira ddala Lakabu olw'okutegeera kwe.
13 Eggulu liyonjebwa olw'omwoyo gwe; Omukono gwe gwafuuiita omusota oguwulukuka.
14 Laba, gano ge mabbali gokka ag'amakubo ge: N'akagambo ke tumuwulirako nga katono! Naye okubwatuka okw'obuyinza bwe ani ayinza okukutegeera?

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]