1 Naye kaakano be nsinga obukulu bansekerera, Bakitaabwe nabanyooma okubateeka wamu n'embwa ez'ekisibo kyange.
2 Weewaawo, amaanyi ag'emikono gyabwe gandingasizza ki? Abantu abaweddemu obuvubuka,
3 Bakoozimbye olw'okwetaaga n'enjala; Bameketa ettaka ekkalu mu kizikiza eky'okuzika n'okwonooneka.
4 Banoga enkunga awali ebisaka; N'enkolo ez'omwoloola ye mmere yaabwe.
5 Bagobebwa wakati mu bantu; Babalangira nga bwe balangira omubbi.
6 Kibagwanira okubeera mu njatika ez'omu biwonvu, Mu bunnya obw'omu ttaka n'obw'omu njazi.
7 Balinira mu bisaka, Wansi w'emyennyango we bakuijnaanira.
8 Baana ba basirusiru, weewaawo, baana ba basajja abatalina linnya; Baakubibwa emiggo ne bagobebwa mu nsi.
9 Kale kaakano nze nfuuse oluyimba lwabwe, Weewaawo, adi kigambo kya buwemu gye bali.
10 Bantamwa, banneesamba, Tebaleka kumpandira malusu mu maaso.
11 Kubanga asumuludde omugwa gwe n'ambonyabonya, Era basudde olukoba olugoba mu maaso gange.
12 Ku mukono gwange ogwa ddyo kugolokokera abalalulalu; Basindiikiriza ebigere byange, Era: batuuma ku nze amakubo gaabwe ag'okuzikirira.
13 Boonoona ekkubo lyange, Bongera ku nnaku ze ndabye, Abantu ababulwa aw'okubayamba.
14 Bajja nga bayita mu kituli ekiwagule ekigazi: Wakati mu matongo bangwako.
15 Ebitiisa bikyuse okungwako, Bayigganya ekitiibwa kyange ng'empewo; N'omukisa gwange guweddewa ng'ekire.
16 Era kaakano emmeeme yange efukiddwa munda yange; Ennaku ez'okubonyaabonyezebwamu zinkutte.
17 Ekiro amagumba gange gafumitibwa mu nze, N'obubalagaze obunnuma tebuwummula.
18 Olw'amaanyi amangi ag'endwadde yange ekyambalo kyange kyonoonese: Ensibira ddala ng'ekitogi ky'ekizibawo kyange.
19 Ansudde mu bitosi, Era nfuuse ng'enfuufu n'evvu.
20 Nkukaabira so tonziramu: Nayimirira, n'ontunuulira.
21 Okyuse okuba omukambwe gye ndi: Olw'amaanyi ag'omukoao gwo onjigganya.
22 Onsitulira awali empewo n'ozinneebagazaako; Era onsaanuusizza mu kibuyaga,
23 Kubanga mmanyi ag'olintuusa mu kufa, N'eri enapumba eyateekerwawo abalamu bonna.
24 Mazima taagololere mukono gwe ku kifuavu ky'ebyagwa; Newakubadde nga bibeera mu kuzikirira kwe, omuntu ayinza okulira olw'ebyo.
25 Saamukaabira amaziga oyo eyali mu naaku? Emmeeme yange teyanakuwalira oyo eyeetaaga?
26 Bwe nnasuubira ebiruagi, ebibi ne biryoka bijja; Era bwe nnaliadirira omusana, ekizikiza ne kijja.
27 Ebyenda byange byesera ne bitawummula: Ennaku ez'okubonyaabonyezebwamu zintuuseeko.
28 Ntambula nga mpuubaala awatali njuba: Nnyimirira mu kkuŋŋaaniro ne nkuba enduulu bannyambe.
29 Ndi muganda w'ebibe, Ne bamaaya ndi munnaabwe.
30 Eddiba ery'omubiri gwange liddugadde, linsasambukako, N'amagumba gange gookeddwa n'ebbugumu.
31 Ennanga yange kyevudde ekyuka okuwuubaala, N'omulere gwange gufuuse ddoboozi ly'abo abakaaba amaziga.