Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

एस्तेर / Esther

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42
1 Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti Mpulirizza bingi ebiri bwe bityo:
2 Mwenna muli basanyusa abatagasa.
3 Ebigambo ebitaliimu binaakoma? Oba kiki ekikusosonkereza n'okwanukula n'oyanukula?
4 Era nange nandiyinzizza okwogera nga mmwe bwe mwogera; Emmeeme yammwe singa ebadde mu kifo ky'emmeeme yange, Nandiyinzizza okutunga ebigambo okubanenya, N'okubanyeenyereza omutwe gwange.
5 Naye nandibawadde amaanyi n'akamwa kange, N'okusanyusa kw'emimwa gyange kwandikkakkanyizza obuyinike bwammwe.
6 Newakubadde nga njogera, obuyinike bwange tebunnakkakkana: Era newakubadde nga nzibiikiriza, mpummuzibwa nrya?
7 Naye kaakano ankooyezza: N'ekibiina kyange kyonna okizisizza.
8 Era onkwatidde ddala, ye mujulirwa gye ndi: N'obukovvu bwange bungolokokerako, bunnumiriza mu maaso gange.
9 Antaagudde n'ekiruyi kye, anjigganyizza; Era annumidde obujugu: Omulabe wange ankanulira amaaso.
10 Banjasamidde akamwa kaabwe; Bankubye empi nga banswaza: Bankuŋŋaanirako.
11 Katonda angabula eri atatya Katonda, Era ansuula mu mikono gy'ababi.
12 Nali mpeeraweera n'anjasaamu wakati; Weewaawo, yankwata mu nsingo n'antandaggira okwnmenyamenya: Era ansimbye okuba sabbaawa ye.
13 Abalasi be banzingizza enjuyi zonna, Ayasaamu ensigo zange so tasonyiwa; Afuka omususa gwange ku ttaka.
14 Agenda yeeyongera okununenyamenya; Anfubutukirako ng'omuzira.
15 Ntunze ebibukutu ku ddiba lyange, Era ntadde ejjembe lyange mu nfuufu.
16 Amaaso gange goonoonese olw'okukaaba amaziga, Ne ku bikowe byange kuliko ekisiikirize ky'okufa;
17 Newakubadde nga temuli kyejo mu ngalo zange, N'okusaba kwange kulongoofu.
18 Ai ensi, tobikka ku musaayi gwange, N'okukaaba kwange kuleme okubaako we kuliwummulira.
19 Ne kaakano, laba, omujulirwa wange ali mu ggulu, N'omuyima wange ali waggulu.
20 Mikwano gyange bannyooma: Naye eriiso lyange lifuuka amaziga eri Katonda;
21 Azibire ensonga y'omuntu eri Katonda, N'ey'omwana w'omuntu eri munne.
22 Kubanga emyaka si mingi bwe giriggwaako, Nditambula olugendo gye ssiriva okukomawo.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]