1 Awo abasajja abo abasatu ne baleka okuddamu Yobu, kubanga yaii mutuukiriyu mu maasoge ye.
2 Awo obusungu bwa Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow'omu kika kya Laamu ne bulyoka bubuubuuka eri Yobu, kubanga yeeyita mntuukirivu so si Katonda.
3 Era obusungu bwe ne bubuubuuka n'eri mikwano gye bonsatule kubanga tebaalaba kya kuddamu, naye ne basalira Yobu okumusinga.
4 Era Eriku yali alindiridde okwogera ne Yobu, kubanga waaliwo abaamusinga obukulu.
5 Awo Eriku bwe yalaba nga mu kamwa k'abasajja abo abasatu temuli kya kuddamu, obusungu bwe ne bubuubuuka.
6 Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n'addamu n'ayogera nti Nze ndi muto, nammwe muli bakadde nnyo; Kyennavudde nzibiikiriza ne ssaŋŋanga kubalaga kye ndowooza.
7 Njogedde nti Ennaku ze zandyogedde, Olufulube lw'emyaka lwandiyigirizza amagezi.
8 Naye waliwo omwoyo mu bantu, N'omukka gw'Omuyinza w'ebintu byonna gubawa okutegeera.
9 Abakulu si be bagezi, So n'abakadde si be bategeera emisango.
10 Kyenvudde njogera nti Mumpulire; Era nange naalaga kye ndowooza.
11 Laba, nnindiridde ebigambo byammwe, Mpulirizza ensonga zammwe, Nga munoonya bye muba mwogera.
12 Weewaawo, nteze okutu eri mmwe, Era, laba, nga tewali asinze Yobu, Newakubadde azzeemu ebigambo bye ku mmwe.
13 Mwekuume muleme okwogera nti Tulabye amagezi; Mpozzi Katonda ayinza okumuwangula, si bantu:
14 Kubanga ebigambo bye tabyolekezza nze; So ssiimuddemu na kwogera kwammwe.
15 Basamaaliridde, tebakyayanukula: Tebalina kigambo kya kwogera.
16 Nange naalindirira, kubanga teboogera, Kubanga bayimirira buyimirizi nga tebakyayanukula?
17 Era nange naayanukula ebyange, Era nange naalaga kye ndowooza.
18 Kubanga njijudde ebigambo; Omwoyo gwange oguli mu nze gumpaliriza.
19 Laba, olubuto lwange luliŋŋanga omwenge ogutaliiko we gufulumira; Ng'amaliba amaggya lwagala okwabika.
20 Naayogera ndyoke mpeereweere; Naayasama emimwa gyange ne nziramu.
21 Nkwegayiridde, nneme okusosola mu bantu eri omuntu yenna; So ssiiwe muntu yenna mannya ganyumiikiriza.
22 Kubanga simanyi kuwa mannya ganyumiikiriza; Omutonzi wange yandinziyeewo mangu.