1 Awo Yobu n'addamu Mukama n'ayogera nti
2 Mmanyi nga ggwe oyinza byo Era nga tewali kigambo kye wateesa ekiziyizika.
3 Ani ono akisa okuteesa awatali kumanya? Kyennavudde njatula ebyo bye ssaategedde, Ebigambo eby'ekitalo ebyannemye bye ssaamanye.
4 Nkwegayiridde, wulira, nange ka njogere; Naakubuuza, naawe onziremu.
5 Nali nkuwuliddeko n'okuwulira kw'okutu; Naye kaakano eriiso lyange likulaba,
6 Kyenvudde neetamwa ne nneenenya Mu nfuufu n'evvu.
7 Awo olwatuuka Mukama bwe yamala okugamba Yobu ebigambo ebyo, Mukama n'agamba Erifaazi Omutemani nti Obusungu bwange bukubuubuukidde ggwe ne banno bombi: kubanga temunjogeddeeko ekigambo ekirina ensonga, ng'omuddu wange Yobu bw'ayogedde.
8 Kale nno mwetwalire ente ennume musanvu n'endiga ennume musanvu, mugende eri omuddu wange Yobu, muweeyo ekiweebwayo ekyokebwa; era omuddu wange Yobu anaabasabira; kubanga oyo gwe nnakkiriza nneme okubakola ng'obusirusiru bwammwe bwe buli; kubanga temunjogeddeko kigambo ekirina ensonga ng'omuddu wange Yobu bw'ayogedde:
9 Awo Erifaazi Omutemani ne Birudaadi Omusuki ne Zofali Omunaamasi ne bagenda ne bakola nga Mukama bw'abalagidde: kale Mukama n'akkiriza Yobu.
10 Awo Mukama n'akyusa obusibe bwa Yobu, bwe yasabira mikwano gye: Mukama n'awa Yobu okusinga emirundi ebiri ebyo bye yalina olubereberye.
11 Awo baganda be bonna ne bajja gy'ali ne bannyina bonna n'abo bonna be yamanyagananga nabo olubereberye, ne baliira emmere wamu naye mu nnyumba ye: ne bamukaabira ne bamukubagiza olw'obubi bwonna Mukama bwe yamuleetako: era buli muntu n'amuwa ekitundu ekya ffeeza, na buli muntu empeta eya zaabu.
12 Awo Mukama n'awa omukisa enkomerero ya Yobu okukira entandikwa ye: n'aba n'endiga kakumi mu enkumi nnya, n'eŋŋamira kakaaga, n'emigogo gy'ente lukumi n'endogoyi enkazi lukumi.
13 Era yalina abaana ab'obulenzi musanvu n'ab'obuwala basatu.
14 N'ow'olubereberye n’amutuuma erinnya Yemima; n'ow'okubiri erinnya lye Keeziya; n'ow'okusatu erinnya lye Kerenukappuki.
15 Awo mu nsi yonna ne watalabika abakazi abalungi okwenkana abawala ba Yobu: kitaabwe n'abawa obusika mu baganda baabwe.
16 Awo oluvannyuma lw'ebyo Yobu n'awangaala emyaka kikumi mu ana, n'alaba batabani be n'abaana ba batabani be, bannakasatwe.
17 Awo Yobu n'afa nga mukadde ng'awezezza ennaku nnyingi.