1 Mazima waliwo gye basimira ffeeza, N'ekifo kya zaabu gye balongoosa.
2 Ekyuma kiggibwa mu ttaka, N'ekikomo bakisaanuusa okukiggya mu jjinja.
3 Abantu babibira ekizikiza, Ne bakenneenya okutuuka ku nsalo ekomererayo Amayinja ag'ekizikiza ekikutte n'ag'ekisiikirize eky'okufa.
4 Basima obunnya obuli ewala n'abantu we batuula; Beerabirwa ekigere ekiyitawo: Balengejjera wala n'abantu, bawuubibwawuubibwa eruuyi n'eruuyi.
5 Ensi ye evaamu emmere: Era wansi evnunikibwa ng'ekivuunikibwa n'omuliro.
6 Amayinja gaayo kifo kya safiro, Era erina enfuufu eya zaabu.
7 Ekkubo eryo tewali nnyonyi eyigga erimanyi, So n'amaaso ga kamunyi tegalirabanga.
8 Ensolo ezaamalala teziririnnyangamu, So n'empologoma enkambwe teriyitangamu.
9 Agolola omukono gwe ku jjinja ery'embaalebaale; Avuunika ensozi okuviira ddala we zisibuka.
10 Atema ensalosalo mu njazi; N'amaaso ge galaba buli kintu eky'omuwendo omungi.
11 Asiba emigga gireme okukulukuta; N'ekigambo ekyakisibwa akireeta awalaba.
12 Naye amagezi ganaalabikanga wa? N'ekifo eky'okutegeera we kubeera kiri ludda wa?
13 Abantu tebamanyi muwendo gwago; So tegalabika mu nsi ey'abalamu.
14 Obuziba bwogera nti Tegali mu nze: N'ennyanja eyogera nti Tegali we ndi.
15 Tegafunika lwa zaabu, So ne ffeeza teripimibwa okugagula.
16 Tegayinzika kwenkanyankanyizibwa ne zaabu eya Ofiri, Ne onuku ey'omuwendo omungi oba safiro.
17 Zaabu n'endabirwamn tebiyinza kugenkana: So n'amakula aga zaabu ennungi tegaabenga buguzi bwago.
18 Tebaayogerenga ku kolali n'amayinja ag'endabirwamu: Weewaawo, omuwendo ogw'amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.
19 Topazi eriva e Buwesiyopya teriigenkanenga, So tegenkanyankanyizibwenga ne zaabu ennungi.
20 Kale amagezi gava wa? N'ekifo okutegeera we kubeera kiri ludda wa?
21 Kubanga gakwekebwa amaaso g'abalamu bonna, Era gakisibwa ennyonyi ez'omu bbanga.
22 Okuzikirira n'Okufa kwogera nti Twawulira ekigambo kyago n'amatu gaffe.
23 Katonda ategeera ekkubo lyago, Era ye amanyi ekifo kyago.
24 Kubanga atunuulira okutuuka ku nkomerero z'ensi, Era alaba ebiri wansi w'eggulu lyonna;
25 Okukolera empewo elugera; Weewaawo, apima amazzi n'ekipima.
26 Bwe yateekera enkuba etteeka, N'ekkubo ery'okumyansa okw'okubwatuka:
27 Awo n'alyoka agalaba n'agabuulira; Yaganyweza, weewaawo, n'agakenneenyeza ddala.
28 Era n'agamba abantu nti Laba, okutya Mukama okwo gg magezi; N'okuleka obubi kwe kutegeera.