1 Oyinza okuggyangamu egoonya n'eddobo? Oba okunyigirizanga olulimi lwayo n'omugwa?
2 Oyinza okuyingizanga omugwa mu nnyindo zaayo? Oba okuwummulanga oluba lwayo n'eddobo?
3 Eneekwegayiriranga ebigambo bingi? Oba eneekugambanga ebigambo ebigonvu?
4 Eneeragaananga endagaano naawe, Ogitwalenga okuba omuddu emirembe gyonna?
5 Onoozannyanga nayo nga bw'ozannya n'ennyonyi? Oba onoogisibiranga abawala bo?
6 Ebibiina eby'abavubi binaagifuulanga obuguzi? Banaagigabaniranga mu basuubuzi?
7 Oyinza okujjuzanga eddiba lyayo ebyuma ebiriko amalobo, Oba omutwe gwayo emiwunda egiswaga ebyennyanja?
8 Giteekeko omukono gwo; Jjukira olutalo olemenga okweyongera okukola bw'otyo.
9 Laba, essuubi lyayo lya bwereere: Omuntu taakeŋŋentererwenga bw'agiraba obulabi?
10 Tewali mukambwe bw'atyo n'okwaŋŋanga n'ayaŋŋanga okugisaggula: Kale aluwa oyo ayinza okuyimirira mu maaso gange?
11 Ani eyasooka okumpa, nze mmusasule? Byonna ebiri wansi w'eggulu lyonna byange.
12 Siisirike olw'amagulu gaayo, Newakubadde amaanyi gaayo amangi, newakubadde okugattibwa kwayo okulungi.
13 Ani ayinza okugyambula ekyambalo kyayo eky'okungulu? Ani anaatuuka munda w'enkoba zaayo ebbiri?
14 Ani ayinza okuggulawo enzigi ez'arimaaso gaayo? Entiisa yeetoolodde amannyo gaayo.
15 Amagamba gaayo ag'amaanyi ge malala gaayo, Nga gasibaganye ng'akabonero bwe kanyweza.
16 Erimu lyegatta n'ery'okubiri bwe lityo N'okuyinza empewo ne zitayinza kuyita wakati waago.
17 Geegasse gokka na gokka; Gakwatagana ne gatayinzika kwawulibwa.
18 Okwasimula kwayo kumyansaamu omusana, N'amaaso gaayo gafaanana ebikowe eby'enkya.
19 Mu kamwa kaayo muva emimuli egyaka, N'ensasi ez'omuliro zibuuka okuvaamu.
20 Mu nnyindo zaayo muva omukka, Ng'ogw'entamu etokota n'ogw'ebitoogo ebiggya.
21 Omukka gwayo gwasa amanda, Era omuliro guva mu kamwa kaayo.
22 Mu nsingo yaayo mubeera amaanyi, N'entiisa ezinira mu maaso gaayo.
23 Emiwula gy'ennyama yaayo gyegasse: Ginywerera ku yo: tegiyinza kusagaasagana.
24 Omutima gwayo guguma ng'ejjinja; Weewaawo, guguma ng'olubengo.
25 Bw'eyimuka ab'amaanyi batya: Olw'okwekanga nga baliko eddalu.
26 Bwe bagisimbako ekitala, tekiriiko kye kiyinza kukola; Newakubadde effumu newakubadde omuwunda newakubadde akasaale akasongovu.
27 Ebyuma ebiyita .bisasiro, N'ebikomo miti mivundu.
28 Akasaale tekayinza kugiddusa: Amayinja agavuumuulibwa gafuuka ebiti eriyo.
29 Endoddo ziyitibwa ng'ebiti: Esekerera okuwulukuka kw'akasaale.
30 Ebitundu byayo ebya wansi biriŋŋanga engyo eziriko obwogi: Eteeka ng'eggaali ewuula ku bitosi.
31 Etokosa etmyanja ng'entamu: Efaananya ennyanja amafuta.
32 Emasamasisa ekkubo ennyuma waayo; Obuziba wandibulowoozezza okuba n'envi.
33 Tewali ekigyenkana ku nsi, Ekolebwa obutabaamu kutya.
34 Etunuulira buli kintu ekigulumivu: Ye kabaka w'abaana bonna ab'amalala.