1 Era nate Mukama n'addamu Yobu n'ayogera nti
2 Aleeta ensonga ezitaliimu anaayombesa Omuyinza w'ebintu byonna? Awakanya Katonda akiwoze.
3 Awo Yobu n'alyoka addamu Mukama n'ayogera nti
4 Laba, siriimu ka buntu; n'akuddamu ntya? Nteeka omukono gwange ku kamwa kange.
5 Njogedde omulundi gumu, so ssiddemu; Weewaawo, emirundi ebiri, naye sseeyongere nate.
6 Awo Mukama n'addamu Yobu ng'ayima mu mbuyaga ez'akazimu n'ayogera nti
7 Weesibe nno ekimyu ng'omusajja: Naakubuuza, naawe onziremu.
8 N'okujjulula onojjulula omusango gwe nsala? Ggwe ononsalira nze omusango obeere n'obutuukirivu?
9 Oba olina omukono nga Katonda? Era oyinza okubwatuka n'eddoboozi erifaanana erirye?
10 Weeyonje nno n'okuwooma n'okutiibwa; Yambala ekitiibwa n'obukulu.
11 Fuka obusungu bwo okusukkiridde: Otunuulire buli muntu ow'amalala omujeeze.
12 Tunuulira buli muntu ow'amalala omukkakkanye; Olinnyirire ababi we bayimirira.
13 Bakise wamu mu nfuufu; Siba amaaso gaabwe mu kifo ekikisibwa.
14 Kale mange ne ndyoka nzikiriza ku ggwe Ng'omukono gwo gwe guyinza okukulokola.
15 Laba nno envubu gye nnatondera awamu naawe; Erya omuddo ng'ente.
16 Laba nno amaanyi gaayo gali mu kiwato kyayo, N'amawaggali gaayo gali mu binywa eby'omu lubuto lwayo.
17 Yeesagga omukira ng'omuvule: Ebinywa eby'omu kiwato kyayo byegatta wamu.
18 Amagumba gaayo galinijanga enseke ez'ebikomo; Amagulu gaayo galiŋŋanga ebyuma ebisiba.
19 Ye ekulira amakubo ga Katonda: Ye yekka eyagitonda ayinza okugisembereza ekitala kye.
20 Mazima ensozi zigizaalira ebyokulya; Ensolo zonna ez'omu nsiko we zizannyira.
21 Egalamira wansi w'ebisiikirize by'emiti, Mu bwekwekero obw'omu ndago ne mu bitosi.
22 Ebisiikirize by'emiti bigibikkako; Emyerebu egy'omu bugga gigyetooloola.
23 Laba, omugga bwe gwanjaala, tekankana: Eguma omwoyo Yoludaani newakubadde nga gujjula ne gutuuka ku kamwa kaayo.
24 Waliwo anaagikwata bw'eba ng'etunula, Oba anaawummula ennyindo zaayo n'ekyambika?