Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

एस्तेर / Esther

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42
1 Laba, eriiso lyange lyalaba ebyo byonna, Okutu kwange kwabiwulira ne kubitegeera.
2 Bye mumanyi era nange mbimanyi: Mmwe temunsinga.
3 Mazima naayogera n'Omuyinza w'ebintu byonna, Era njagala okuteesa ne Katonda.
4 Naye mmwe mugunja eby'obulimba, Mmwenna muli basawo abataliiko kye bagasa.
5 Singa musirikidde ddala! Lwe mwandibadde n'amagezi.
6 Muwulire nno easonga yange, Mutege okutu eri okuwoza kw'emimwa gange.
7 Munawolereza Katonda nga mwogere ebitali bya songa, Era nga muleeta eby’obulimba?
8 Munaamutya kitiibwa? Munaayomberera Katonda?
9 Kirungi ye okubakebeta? Oba ng'omuntu bw'alimba mu nne munaamulimba ye?
10 Talirema kubanenya, Bwe munaatya ekitiibwa mu kyama.
11 Obukulu bwe obusinga tebulibatiisa N'entiisa ye teribagwako?
12 Ebigambo byammwe ebijjukirwa ngero za vvu, Enkomera zammwe nkomera za ttaka.
13 Musirike mundeke njogere, Ebinaayagala okujja binjijire.
14 Kiki ekinaaba kintwaza omubiri gwange mu mannyo gange, Ne nteeka obulamu bwange mu mukono gwange?
15 Newakubadde ng'anzita era naye naamulindiriranga: Era naye naakakasanga amakubo gange mu maaso ge.
16 Era ekyo kye kinaabanga obulo kozi bwange; Kubanga omusajja atatya Katonda taatuukenga mu maaso ge.
17 Muwulire nnyo ebigambo byange, N'ebyo bye njatula bibe mu matu gammwe.
18 Laba nno, ndiraanyizza ensonga yange; Mmanyi nga ndi mutuukirivu.
19 Ani anaawakana nange? Kubanga kaakano naasirika ne nta omukka.
20 Kyokka tonkola bigambo bibiri, Kale ne sseekweka amaaso go:
21 Nziyaako omukono gwo gumbeere wala; So n'entiisa yo ereme okunkanga.
22 Kale koowoola ggwe nange naayitaba; Oba leka njogere naawe onziremu.
23 Obutali butuukirivu bwange n'ebibi byange byenkana wa obungi? Ntegeeza okusobya kwange n'okwonoona kwange.
24 Okisiza ki amaaso go, N'ompita omulabe wo?
25 Onoococca essubi eritwalibwa empewo? Era onooyigganya ebisasiro ebikaze?
26 Kubanga ompandiikira ebigambo eby'ekkabyo, Era onsisa obutali butuukirivu obw'omu buto bwange:
27 N'ebigere byange obisiba mu nvuba, era olamba amakubo gange gonna; Okoloboza olukoloboze okwetooloola ebigere byange:
28 Newakubadde nga nfaanana ekintu ekivundu ekiggwaawo, Ekyambalo ekiriiriddwa ennyenje.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]