Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

एस्तेर / Esther

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42
1 Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2 Mazima ddala mmwe muli bantu bennyini, Era amagezi galifiira wamu nammwe.
3 Naye nange nnina okutegeera so si mmwe mwekka; Mmwe temunsinga: Weewaawo, ani atamanyi ebiri ng'ebyo?
4 Ninga omuntu asekererwa eri munne, Omusajja eyakaabira Katonda n'amuddamu: Omusajja ow'ensonga era eyatuukirira asekererwa.
5 Mu kulowooza kw'oyo eyessa mulimu okunyooma akabi; Kweteekeddeteekedde abo abaseerera n'ekigere kyabwe.
6 Eweema ez'abanyazi ziraba omukisa, N'abo abanyiiza Katonda baba mirembe; Katonda aleeta ebintu bingi mu mukono gwabwe.
7 Naye nno buuza ensolo, zinaakuyigiriza; N'ennyonyi ez'omu bbanga, zinaakubuulira:
8 Oba yogera n'ettaka, linaakuyigiriza; N'ebyennyanja ebiri mu nnyanja binaakunnyonnyola.
9 Ani atamanyi mu ebyo byonna, Ng'omukono gwa Mukama gwe guleese ebyo?
10 Obulamu bwa buli kintu ekiramu buli mu mukono gw'oyo, N'omukka gw'abantu bonna.
11 Okutu tekukema bigambo, Era ng'amatama bwe galega ku mmere yaago?
12 Amagezi gaba n'abasajja abakadde, N'okutegeera kuba mu kuwangaala ennaku nnyingi.
13 Eri ye eriyo amagezi n'amaanyi; yalina okuteesa ebigambo n'okutegeera.
14 Laba, amenya so tekiyinzika kuzimbibwa nate; Aggalira omuntu so tewayinza kubaawo kuggulawo.
15 Laba, aziyiza amazzi ne gakala; Nate agasindika ne gavuunika ensi.
16 Eri ye eriyo amaanyi n'okukolera ddala; Alimbibwa n'alimba babe.
17 Atwala abateesa b'ebigambo nga banyagiddwa, N'abalamuzi abafuula abasirusiru.
18 Asumulula olujegere lwa bakabaka, Era asiba ekiwato kyabwe n'olukoba.
19 Atwala bakabona nga banyagiddwa, Era amegga ab'amaanyi.
20 Abeesigwa amalawo okwogera kwabwe, N'abakadde abaggyako okutegeera kwabwe.
21 Afuka okunyoomebwa ku balangira, Era asumulula olukoba olw'ab'amaanyi.
22 Ayolesa eby'obuziba ng'abiggya mu kizikiza, Era ayerula ekisiikirize eky'okufa.
23 Ayaza amawanga, era agazikiriza: Abunya amawanga mu nsi, era agakomyawo.
24 Abakulu b'abantu ab'omu nsi abaggyako omwoyo, Era abawabiza mu ddungu awatali kkubo.
25 Bawammantira mu kizikiza awatali musana, Era abatagassa ng'omutamiivu.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]