Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

एस्तेर / Esther

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42
1 Era nate Eriku ne yeeyongera n'ayogera nti
2 Sooka ondeke, nange naakunnyonnyola; Kubanga nkyaliko kye njagala okwogera ku lwa Katonda
3 Naggya wala okumanya kwange, Era naamussaako obutuukirivu Omutonzi wange.
4 Kubatrga mazima ebigambo byange si bya bulimba: Omuntu eyatuukirira mu kumanya ali naawe.
5 Laba, Katonda wa maanyi, so tanyooma mnntu yenna: Wa maanyi mu buyinza obw'okutegeera.
6 Takuuma bulamu bw'ababi: Naye abawa ababonyaabonyezebwa ebyabwe.
7 Taggya maaso ge ku batuukirivu Naye awali bakabaka ku ntebe Gy'abateeka emirembe gyonna ne bagulumizibwa.
8 Era bwe baba nga basibiddwa n'amasamba, Era nga bakwasibwa n'emigwa egy'okubonyabonyezebwa;
9 Kale n'abalaga omulimu gwabwe, N'okusobya kwabwe nga bagize eby'amalala.
10 Era aggulawo okutu kwabwe okuwulira okuyigirizibwa, N'abalagira bakomewo okuva mu butali butuukirivu.
11 Bwe bawulira ne bamuweereza, Banaamalanga ennaku zaabwe nga balabye omukisa, N'emyaka gyabwe nga basanyuka.
12 Naye bwe batawulira banaazikiriranga n'ekitala, Era banaafanga awatali kumanya.
13 Naye abo abatamanyi Katonda mu mutima batereka obusungu: Tebakuba nduulu bayambwe bw'abasiba.
14 Bafa nga bakyali bato, N'obulamu bwabwe buzikirira mu abo abatali balongoofu.
15 Awonya oyo abonyabonyezebwa olw'okubonyabonyezebwa kwe, Era aggula okutu kwabwe bwe bajoogebwa.
16 Weewaawo, yandikuggye mu kuiaba ennaku N'akuyingiza mu kifo ekigazi awatali kunyigirizibwa; N'ekyo ekiteekebwa ku mmeeza yo kyandijjudde obugimu.
17 Naye ggwe ojjudde omusango gw'omubi: Omusango n'okusala eby'ensonga bikukwata.
18 Kubanga waliwo obusungu, weekuume oleme okutwalibwa n'obugagga So enguzi tekukyamyanga kubanga nnene.
19 Obugagga bwo bunaamala oleme okulaba ennaku, Oba obuyinza bwonna obw'amaanyi go?
20 Teweegomba kiro, Amawanga bwe gazikirizibwa mu kifo kyago.
21 Weekuume oleme okutunuulira obutali butuukirivu: Kubanga weerobozezza obwo okusinga okubonyabonyezebwa.
22 Laba, Katonda akola ebigulumivu mu buyinza bwe: Ani omuyigiriza afaanana ye?
23 Ani eyali amulagidde ekkubo lye? Oba ani ayinza okwogera nti Okoze ebitali bya butuukirivu?
24 Jjukira okugulumizanga omulimu gwe, Abantu gwe baayimbangako.
25 Abantu bonna baagutunuulira; Abantu baagulengera nga bayima wala.
26 Laba, Katonda mukulu, naffe tetumumanyi; Omuwendo gw'emyaka gye tegunoonyezeka.
27 Kubanga awalula waggulu amatondo g'amazzi, Agatonnya enkuba eva mu mukka gwe:
28 Eggulu ge liyiwa Ne ligatonnya ku bantu mangi nnyo.
29 Weewaawo, waliwo ayinza okutegeera ebire bwe bibambibwa, Okubwatuuka okw'omu weema ye?
30 Laba, yeeyaliirira omusana gwe okwetooloola; Era asaanikira ku nnyanja wansi.
31 Kubanga olw'ebyo asala emisango gy'amawanga; Agaba emmere nnyingi nnyo.
32 Abikka engalo ze n'enjota; Era aziragira zikube sabbaawa.
33 Eddoboozi lyazo linnyonnyola ebigambo bye, Era libuulira n'ente kibuyaga ayambuka.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]