1 Awo Mukama n'alyoka addamu Yobu ng'ayima mu mbuyaga ez'akazimu n'ayogera nti
2 Ani ono aleeta akizikiza mu kuteesa N'ebigambo ebitaliimu kumanya?
3 Kale nno weesibe ekimyu ng'omusajja; Kubanga naakubuuza, naawe onziremu.
4 Wali oli ludda wa bwe nnassaawo emisingi gy'ensi? Yatula oba olina okutegeera.
5 Ani eyateesa ebigera byayo, oba nga omanyi? Oba ani eyagireegera omugwa?
6 Emisingi gyayo gyasibirwa ku ki? Oba ani eyassaawo ejjinja lyayo ekkulu ery'oku nsonda;
7 Emmunyeenye ez'enkya bwe zaayimbira awamu, N'abaana ba Katonda bonna ne boogerera waggulu olw'essanyu?
8 Oba ani eyasiba ennyanja n'enzigi, Bwe yawaguza ng'ekiva mu lubuto;
9 Bwe nnafuula ekire okuba ekyambalo kyayo, N'ekizikiza ekikutte okuba ebiwero eby'okubikka,
10 Bwe nnagiragira etteeka lyange, Ne nzisaawo ebisiba n'enzigi,
11 Ne njogera nti Wano w'okomanga so tosukkangawo; Era wano amayengo go ag'amalala we gaziyirizibwanga?
12 Wali olagidde enkya ennaku zo kasookedde zibaawo, Wali omanyisizza emmambya ekifo kyayo;
13 Ekwate enkomerero z'ensi, Era ababi bakunkumulwe okugivaamu?
14 Ewaanyisibwa ng'ebbumba wansi w'akabonero; N'ebintu byonna bikukunuka ng'ekyambalo:
15 N'ababi omusana gwabwe gubaggibwako, N'omukono ogugulumizibwa gumenyeka.
16 Wali oyingidde mu nsulo ez'ennyanja? Oba wali otambudde mu madubi ag'obuziba?
17 Enzigi ez'okufa zaali zikubikkuliddwa? Oba wali olabye enzigi ez'ekisiikirize eky'okufa?
18 Wali otegedde ensi bw'eri engazi? Yatula, oba nga obimanyi byonna.
19 Ekkubo liri ludda wa eridda mu nnyumba ey'omusana, N'ekizikiza ekifo kyakyo kiri ludda wa;
20 Ekkubo liri ludda wa eridda mu nnyumba ey'omusana, N'ekizikiza ekifo kyakyo kiri ludda wa;
21 Omanyi, kubanga wali ozaaliddwa mu biro ebyo; N'omuwendo gw'ennaku zo mungi!
22 Wali oyingidde mu mawanika g'amazzi amakwafu, Oba wali olabye amawanika ag'omuzira,
23 Ge nnaterekera ebiro eby'okulabiramu ennaku, Olunaku olw'olutalo n'obulwa?
24 Mu kkubo ki omusana mwe gwawukanira, Oba embuyaga ez'ebuvanjuba mwe zisaasaanira ku nsi?
25 Ani eyasalira amataba olusalosalo, Oba ekkubo ery'enjota ez'okubwatuka;
26 Okutonnyesa enkuba ku nsi okutali muntu; Mu ddungu omutali muntu n'omu;
27 Okukkusa ettaka eryazika eryalekebwa; N'okulosa omuddo omuto?
28 Enkuba erina kitaawe waayo? Oba ani eyazaala amatondo ag'omusulo?
29 Mu lubuto lw'ani omwava amazzi amakwafu? N'omusulo omukwafu omweru ogw'omu ggulu ani eyaguzaala?
30 Amazzi gakwekebwa nga gakwekeddwa n'amayinja. Ne kungulu ku buziba nga kukutte.
31 Oyinza okusiba ekikuukuulu kya Kakaaga, Oba okusumulula olukoba Iw'Entungalugoye?
32 Oyinza okufulumya emmunyeenye mu ntuuko zaazo? Oba oyinza okulunnamya Nabaliyo n'abaana be?
33 Omanyi ebiragiro eby'omu ggulu? Oyinza okunyweza okufuga kwalyo mu nsi?
34 Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo eri ebire, Amazzi amangi ennyo gakubikkeko?
35 Oyinza okuweereza enjota zitambule, Ne zikugamba nti Ne tuutuno?
36 Ani eyateeka amagezi mu bitundu eby'omunda? Oba ani eyawa emmeeme okutegeera?
37 Ani ayinza okubala ebire olw'amagezi? Oba ani ayinza okuttulula amaliba ag'omu ggulu,
38 Enfuufu bw'ekulukuta n'eba effunfugu, Amafunfugu ne geegattira ddala?
39 Onooyiggira empologoma enkazi omuyiggo? Oba onokkusa okwegomba kw'abaana b'empologoma,
40 Bwe zisula mu mpuku zaazo, Ne zibeera mu bisaka okuteega?
41 Ani alabira namuŋŋoona emmere ye, Abaana be bwe bakaabira Katonda, Ne batambulatambula olw'okubulwa ebyokulya?