1 Era n'ekyo kikankanya omutima gwange, Ne gunyeenyezebwa okuva mu kifo kyagwo.
2 Muwulire okuwuuma kw'eddoboozi lye, N'okududuma okuva mu kamwa ke.
3 Akusindika wansi w'eggulu lyoN'okumyansa kwe kubuna enkomerero z'ensi.
4 Oluvannyuma lwakwo eddoboozi ne liwuluguma; Abwaluka n'eddoboozi ery'obukulu bwe: So tabiziyiza eddoboozi lye bwe liwulirwa.
5 Katonda abwatuka kitalo n'eddoboozilye; Akola ebikulu bye tutayinza kutegeera.
6 Kubanga agamba omuzira nti Gwa ku nsi; Era bw'atyo bw'agamba oluwandaggirize, N'empandaggirize ez'enkuba ye ey'amaanyi.
7 Assa akabonero ku mukono gwa buli muntu; Abantu bonna be yatonda balyoke bakimanye.
8 Awo ensolo ne zigenda mu bwekwekero, Ne zibeera mu mpuku zaazo,
9 Mu kisenge eky'obukiika obwa ddyo mwe muva omuyaga: Empewo ne ziva mu bukiika obwa kkono.
10 Omukka gwa Katonda gwe guleeta omuzira: N'amazzi bwe genkana obugazi ne gakwata.
11 Weewaawo, ajjuza ekire ekiziyivu amazzi; Abamba ekire eky'enjota ze:
12 Era okuluŋŋamya kwe kwe kukikyusakyusa eruuyi n'eruuyi, Bikolenga byonna by'abiragira Kungulu ku nsi yonna okubeereka:
13 Oba nga kya kubuulirira, oba nga kya nsi ye, Oba nga kya kusaasira, kyava akireeta.
14 Ekyo kiwulire, ggwe Yobu: Yimirira buyimirizi, olowooze ebikolwa bya Katonda eby'ekitalo.
15 Omanyi Katonda bw'abikuutira, N'ayasa enjota ez'omu kire kye?
16 Omanyi okutereezebwa kw'ebire, Ebikolwa eby'ekitalo eby'oyo eyatuukirira mu kumanya?
17 Ebyambalo byo bwe bibuguma, Ensi ng'esirise olw'embuyaga ez'obukiika obwa ddyo?
18 Oyinza okubambira eggulu awamu naye, Amaanyi gaalyo genkana enda birwamu ensaanuuse?
19 Tuyigirize bye tuba tumugamba; Kubanga tetuyinza kuliraanya kwogera kwaffe olw'ekizikiza.
20 Anaabuulirwa nga njagala okwogera? Oba omuntu yandyagadde okumirwa?
21 Era kaakano abantu tebalaba musana ogumasamasa mu ggulu: Naye embuyaga ne ziyita ne ziryerula.
22 Mu bukiika obwa kkono mwe muva okuyakaayakana okuli nga zaabu: Katonda ayambadde ekitiibwa ekikanga.
23 Omuyinza w'ebintu byonna tetuyinza kumunoonya; asinga bonna obuyinza: Era mu musango ne mu butuukirivu obusukkirivu talibonyabonya.
24 Abantu kyebava bamutya: abassaako mwoyo abo bonna abalina emitima egy'amagezi.