1 Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2 Mazima mmanyi nga bwe kiri bwe kityo: Naye omuntu ayinza atya okuba n'obutuukirivu eri Katonda?
3 Bw'aba nga ayagadde okuwakana naye Tayinza kumuddamu kigambo na kimu mu lukumi.
4 Omutima gwe gwa magezi, era amaanyi ge mangi:. Ani eyali yeekakanyazizza eri ye n'alaba omukisa?
5 Ajjulula ensozi ne zitamanya, Bw'azivuunisa obusungu bwe.
6 Anyeenya ensi okuva mu kifo kyaya, Empagi zaayo ne zikankana.
7 Alagira enjuba n'etevaayo; Era ateekako akabonero ku mmunyeenye.
8 Abamba eggulu yekka, Era alinnyirira amayengo ag'ennyanja.
9 Akola Nabaliyo, Enttmgalugoye, ne Kakaaga, N'ebisenge eby'obukiika obwa ddyo.
10 Akola ebikulu ebitanoonyezeka; Weewaawo, eby'ekitalo ebitabalika.
11 Laba, ampitako, ne ssimulaba: Era yeeyongerayo mu maaso, naye ne ssimutegeera.
12 Laba, akwata omuyiggo, ani ayinza okumuziyiza? Ani anaamugamba nti Okola ki?
13 Katonda taggyengawo busungu bwe; Ababeezi ba Lakabu bakutama wansi we.
14 Nze sirisinga nnyo obutamuddamu, Ne nneerobaza ebigambo byange mpakane naye?
15 Gwe sandizeemu newakubadde nga ndi mutuukirivu; Nandyegayidde omulabe wange.
16 Singa ukoowodde naye ng'ajitabye; Era naye sandikkirizza ng'awulidde eddaboozi lyange.
17 Kubanga ammenya ne kibuyaga, Era ayongera ebiwundu byange okunnanga obwereere
18 Taŋŋaayenga kussa mukka, Naye anjijuza obubalagaze.
19 Bwe twogera ku maanyi ag'omuyinza, laba, nga waali! Bwe twogera ku kusala omusango, ani arjanteekerawo ekiseera?
20 Newakubadde nga ndi mutuukirivu, akamwa kange nze ke kanansalira omusango okunsinga: Newakubadde nga natuuhirira, kanantegeeza okuba omukyamu.
21 Nze ndi muntu eyatuukirira; seerowooza nzekka; Nnyooma obulamu bwange.
22 Bwonna bwe bumu; kyenva njogera nti Azikiriza oyo eyatuukirira n'omubi.
23 Ekibonyoobonyo bwe kitta amangu ago, Alikudaalira okusalirwa omusango okw'abataliiko kabi.
24 Ensi eweereddwayo mu mukono gw'omubi : Abikka ku maaso g'abalamuzi baayo; Oba nga si ye, kale ye ani?
25 Ennaku zange nno ziwulukuka mangu okusinga omubaka: Zidduka, teziriiko bulungi bwe ziraba.
26 Ziyise ng'amaato agatambula embiro Ng'empungu ekka ku muyiggo.
27 Bwe njogera nti Nneerabira okwemulugunya kwange, Naasanyusa amaaso gange aganakuwadde ne ŋŋumya omwoyo:
28 Awo nga ntidde obuyinike bwaage bwonna, Mmanyi nga tolimpita ataliiko musango.
29 Omusango gulinsinga; Kale kiki ekinteganyisa obwereere?
30 Bwe nnaaba amazzi ag'omuzira, Engalo zange newakubadde nga nzitukuza ntya;
31 Era naye olinsuula mu lusalosalo, N'engoye zange nze zirintamwa.
32 Kubanga ye si muntu nga nze bwe ndi, nze okumuddamu, Ffe okulabagana okuwoza omusango.
33 Tewali mulamuzi ali wakati waffe, Eyandiyinzizza okuteeka omukono gwe ku ffe fembi.
34 Anziyeeko omuggo gwe, So entiisa ye ereme okunkanga:
35 Kale bwe nnandyogedde ne simutya: Kubanga si bwe ntyo bwe ndi nze nzekka.