Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

एस्तेर / Esther

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42
1 Era nate Eriku n'addamu n'ayogera nti
2 Olowooza ekigambo ekyo ye nsonga yo, Oba oyogera nti Obutuukirivu bwange businga obwa Katonda?
3 N'okwogera n'oyogera nti Kirikugasa ki? Era nti Ndifuna magoba ki ge ndiba nago okukira ge nnandifunye singa nayonoona?
4 Nze nnaakuddamu, Ne banno wamu naawe.
5 Tunuulira eggulu olabe; Era ttunuulira eggulu erikusinga obugulumivu.
6 Oba nga oyonoonye omukola ki? Okusobya kwo bwe kweyongerayongera, omukola ki?
7 Bw'oba n'obutuukirivu, omuwaki? Oba aweebwa ki mu mukono gwo?
8 Obubi bwo buyinza okulumya omuntu nga ggwe bw'oli; N'obutuukirivu bwo buyinza okugasa omwana w'omuntu.
9 Olw'okujoogebwa okungi ennyo bakaaba; Bakuba enduulu bayambibwe olw'omukono ogw'ab'amaanyi.
10 Naye tewali ayogera nti Katonda Omutonzi wange ali ludda wa, Awa ennyimba ekiro;
11 Atuyigiriza okusinga ensolo ez'oku nsi, Era atuwa amagezi okukira ennyonyi ez'omu bbanga?
12 Bakaabira eyo, naye tewali addamu, Olw'amalala ag'abantu ababi.
13 Mazima Katonda taawulire bigambo ebitaliimu, So n'Omuyinza w'ebintu byonna tasseeyo mwoyo.
14 Kale aliwulira atya bw'oyogera nti tomulaba, Ensonga eri mu maaso ge, naawe omulindirira?
15 Naye kaakano kubanga tabonerezza na busungu bwe, So tassaayo nnyo omwoyo eri esukuti;
16 Yobu kyava ayasama akamwa ke okwogera ebigambo ebitaliimu; Ayongerayongera ebigambo awatali kumanya.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]