1 Nalagaana endagaano n’amaaso gange; Kale nandiyinzizza ntya okutunuulira omuwala?
2 Kubanga omugabo gwa Katonda oguva waggulu kye kiki, N'obusika obw'Omuyinza w'ebintu byonna obuva engulu?
3 Si buyinike eri atali mutuukirivu, N'okulaba ennaku eri abakola eby'obujeemu?
4 Talaba makubo gange, N'abala ebigere byange byonna?
5 Oba nga nali ntambudde n'obutaliimu, Oba nga ekigere kyange kyanguye okukuusakuusa;
6 (Mpimibwe mu minzaani eyenkanankana, Katonda alyoke amanye obutayonoona bwange;)
7 Oba nga ekigere kyange kyali kikyamye mu kkubo, N'omutima gwange oba nga gwali gugoberedde amaaso gange, Era oba nga ebbala lyonna lyali lyegasse n'engalo zange:
8 Kale nze nsige, omulala alye; Weewaawo, emmere ey'omu nnimiro yange esimbulibwe.
9 Omutima gwange oba nga gwali gusendeddwa eri omukazi, Ne nteegera ku mulyango gwa munnange:
10 Kale mukazi wange aseere omulala, Era abalala bakutame ku ye.
11 Kubanga ekyo kyandibadde kya kiwe; Weewaawo, kyandibadde kibi ekigwana abalamuzi okukibonereza:
12 Kubanga muliro ogwokya ne guzikiriza, Era ogwagala okusimbula emmere yange yonna.
13 Oba nga nali nnyoomye ensonga ey'omuddu wange oba omuzaana wange, Bwe bampawaabira:
14 Kale ndikola ntya, Katonda bw'aligolokoka? Era bw'alinjijira, ndimuddamu ntya?
15 Eyankola nze mu lubuto si ye yamukola ye? Eyatubumba mu lubuto fembi si omu?
16 Oba nga nali nnyimye abaavu kye beegomba, Oba nali mazizzaawo amaaso ga nnamwandu;
17 Oba nali ndidde akamere kange nzekka; So atalina kitaawe taliddeeko.
18 (Nedda, okuva mu buto bwange yakulira wamu nange nga kitaawe, Ne nnamwandu n'abanga mulezi we okuva mu lubuto lwa mmange;)
19 Oba nga nali ndabye n'omu ng'afa olw'okubulwa ebyambalo, Oba eyeetaaga nga talina kye yeebikka:
20 Ekiwato kye oba nga tekyanneebaza, Era oba nga tabugumye na byoya bya ndiga zange;
21 Oba nga nali nnyimusizza omukono gwange eri atalina kitaawe, Kubanga nalaba anannyamba mu mulyango:
22 Kale ekibegabega kyange kive ku nkwakwa, N'omukono gwange gukutuke okuva ku ggumba.
23 Kubanga bbuyinike obuva eri Katonda bwabanga ntiisa gye ndi, Era olw'obukulu bwe ne ssibaako kye nnyinza kukola.
24 Oba nga nali nfudde zaabu okuba essuubi lyange, Era oba nga nali nnambye zaabu ennungi nti Ggwe bwesige bwange;
25 Oba nga nali nsanyuse kubanga obugagga bwange bwali bungi, Era kubanga omukono gwange gwali gufunye bingi;
26 Oba nga nali ntunuulidde enjuba, Oba omwezi nga gutambulira mu kumasamasa;
27 Omutima gwange ne gusendebwa kyama, Akamwa kange ne kanywegera omukono gwange:
28 Era n'ekyo kyandibadde kibi ekigwana abalamuzi okukibonereza: Kubanga nandirimbye Katonda ali waggulu.
29 Oba nga nali nsanyukidde oyo eyankyawa ng'azikiridde, Oba nali neeyimusizza obubi bwe bwamulaba;
30 (Weewaawo, saaganya kamwa kange kwonoona Nga nsaba obulamu bwe nga nkolima;)
31 Abasajja ab'omu weema yange oba nga tebaayogera nti Ani ayinza okulaba omuntu atakkuse nnyama ye?
32 Omugenyi teyasulanga mu luguudo; Naye n'aggulirangawo enzigi zange omutambuze;
33 Oba nga nali mbisse ku kusobya kwange nga Adamu, Nga nkisa obutali butuukirivu bwange mu kifuba kyange;
34 Kubanga nali ntidde ekibiina ekinene, N'okunyoomebwa ebika ne ku nkanga, N'okusirika ne nsirika ne ssiva mu mulyango.
35 Singa wabaddewo anampulira! (Laba, kano ke kabonero kange Omuyinza w'ebintu byonna anziremu;) Era mba kuba n'ekyo omulabe wange ky'ampawaabidde ky'awandiise!
36 Mazima nandikisitulidde ku kibegabega kyange; Nandikyesibye nga kiremba.
37 Nandimubuulidde ebigere byange bwe byenkana omuwendo; Nandimusemberedde ng'omukungu.
38 Ensi yange bw'enempawaabira, N'ebibibi byayo ne bikaabira wamu amaziga;
39 Oba nga nali ndidde ebibala byamu awatali ffeeza, Oba nali nfiisizza bannyini yo:
40 Omwennyango gudde mu kifo ky'eŋŋaano. Ne ssere mu kifo kya sayiri. Ebigambo bya Yobu biwedde.