Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

एस्तेर / Esther

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42
1 1 Awo Yobu n'aleeta nate olugero lwe n'ayogera nti
2 Singa mbadde nga bwe anal mu myezi egyayita, Nga bwe naali mu nnaku Katonda ze yandabirirangamu;
3 Ettabaaza ye lwe yayakirang omutwe gwange, N'omusana gwe gwe gwantambuzanga okuyita mu kizikiza;
4 Nga bwe nnali etmaku zange nga zengedde, Ekyama kya Katonda bwe kyabanga ku weema yange;
5 Omuyinza w'ebintu byonna bwe yali ng'akyali nange, N'abaana bange nga bakyanneetoolodde;
6 Ebigere byange bwe byanaazibwanga n'omuzigo, N'olwazi bwe lwanfuukira emigga egy'amafuta!
7 Bwe nnafulumanga ne ŋŋenda eri omulyango mu kibuga, Bwe nnategekanga entebe yangi mu luguudo,
8 Abalenzi baandabanga ne bee kweka, Abakadde ne tiayimukanga bayimirira;
9 Abakungu ne balekanga okwogera, Ne bateeka omukono gwabwe kamwa kaabwe;
10 Eddoboozi ery'abakulu ne lisirika, Olulimi lwabwe ne lwegatta n'ekibuno ky'akamwa kaabwe.
11 Kubanga okutu bwe kwampuliranga ne kulyoka kunneebaza; Era eriiso bwe lyandabanga liba mujulirwa wange:
12 Kubanga nawonyanga omwavu eyakaaba, Era n'atalina kitaawe eyabulwa ow'okumuyamba.
13 Omukisa gwanjijira oyo gwe yansabira eyali ayagala oki zikirira: Ne nnyimbisa olw'essanyu omutima gwa nnamwandu.
14 Nayambala obutuukirivu ne bumbikkako: Obutalya nsonga bwange ne buba ng'omunagiro n'engule.
15 Nabanga amaaso eri omuzibe, Era nabanga ebigere eri awenyera.
16 Nabanga kitaabwe abeetaaga: Era nakeberanga ensonga y'oyo gwe ssaamanya.
17 Era namenyanga atali mutuukirivu oluba, Ne nsika omuyiggo ne nguggya mu mannyo ge,
18 Kale ne njogera nti Ndifiira mu kisu kyange, Era naayongeranga ennaku zange ng'omusenyu:
19 Emmizi gyange giranze eri amazzi, N'omusulo gubeera ku ttabi lyange ne gukeesa obudde:
20 Ekitiibwa kyange kiggya gye ndi, N'omutego gwange guzzibbwa buggya mu mukono gwange.
21 Nze abantu bampulirizanga ne balinda, Ne basirikira okuteesa kwange.
22 Nga ndeese ebigambo bo ne batayogera nate; Okwogera kwange ne kubagwako.
23 Era bannindirira nga bwe balindirira enkuba; Era bayasama nnyo akamwa kaabwe ng'abayasamira enkuba eya ttoggo.
24 Bwe nnabasekeranga ne batakkiriza; N'omusana gw'amaaso gange tebaagusuula.
25 Neerobozanga ekkubo lyabwe ne ntuula ng'omukulu, Ne mbeera nga kabaka mu ggye, Ng'omuntu akubagiza abakungubaga.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]