1 Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'ayogera nti
2 Okufuga n'entiisa biri naye; Aleeta emirembe mu bifo bye ebigulumivu.
3 Eggye lye liriko gye likoma? Era ani ataviirwayo omusana gwe?
4 Kale omuntu ayinza atya okuba n'obutuukirivu eri Katonda? Oba ayinza atya okuba omulongoofu oyo azaalibwa omukazi?
5 Laba, n'omwezi tegulina kumasamasa, N'emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge:
6 Okusinga ennyo omuntu, envunyu! N'omwana w'omuntu, olusiriŋŋanyi!