Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

एस्तेर / Esther

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42
1 Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2 Mulituusa wa okweraliikiriza emmeeme yange, Ne mummeayamenya n'ebigagambo?
3 Mwakanwmira emirundi kkumi: Temukwatiddwa nsonyi okunzitoowerera.
4 N'okukyama newakubadde nga nkyamye, Okukyama kwange kubeera nange mwene.
5 Okwegulumiza oba nga muneegulumiza eri nze, Ne mundeetako ekivume kyange:
6 Mutegeere nno nga Katonda ansudde mu nsonga yange, Era anzingizizza n'ekitimba kye.
7 Laba, ajogerera waggulu olw'okujoogebwa, naye ne siwulirwa: Lidaagana nfune obuyambi, naye siraba antaasa.
8 Azibye ekkubo lyange n'okuyinza ne ssiyinza kuyitamu, Era atadde ekizikiza mu makubo gange.
9 Anziyeeko ekitiibwa kyange, Era aggye engule ku mutwe gwange.
10 Ammenyemenye enjuyi zonna, era ŋŋenze: N'essuubi lyange alisimbudde ng'omuti.
11 Era abuubuusizza obusungu bwe ku nze, Era ampita omu ku balabe be gy'ali.
12 Eggye lye litabaalira wamu, ne batuuma ekkubo lyabwe ku nze, Ne basiisira okuzingiza eweema yange.
13 Baganda bange abantadde wala, N'abo be mmanyi bafuukidde ddala nga be ssimanyi:
14 Ab'ekika kyange baweddewo, Ne mikwano gyange ennyo banneerabidde.
15 Abo ababeera mu nnyumba yange n'abazaana bange bampita mugenyi: Ndi munnaggwanga mu maaso gaabwe.
16 Mpita omuddu wange n'atanjitaba, Newakubadde nga mmwegayirira n'akamwa kange.
17 Omukka gwange mukazi wange tagumanyi, N'okwegayirira kwange abaana b'enda ya mmange tebakumanyi:
18 Era n'abaana abato bannyooma; Bwe nnyimuka banjogerako obubi.
19 Emikwano gyange bonna be nteesa nabo bantamiddwa: N'abo be nnayagalanga bakyuse okuba abalabe bange.
20 Eggumba lyange lyegatta n'eddiba lyange n'omubiri gwange,Era mponye n'eddiba ly'okumanayo gange.
21 Munsaasire, munsaasire, si mmwe mikwano gyange; Kubanga omukono gwa Katonda gunkomyeko.
22 Kiki ekibanjiggaayisa nga Katonda, So n'omubiri gwange tegubamala?
23 Singa nno ebigambo byange biwandiikiddwa! Singa biwandiikiddwa mu kitabo!
24 Singa byoleddwa ku lwazi N'ekkalaamu ey'ekyuma n'ekisasi okumala emirembe gyonna!
25 Naye mmanyi nga Omununuzi wange aba mulamu, Era ku nkomerero ng'aliyimirira ku nsi:
26 Era eddiba ly'omubiri gwange bwe lirimala okuzikirizibwa bwe lityo, Naye mu mubiri gwange ndiraba Katonda:
27 Gwe ndiraba nze mwene, N'amaaso gange galimutunuulira so si mulala. Emmeeme yange emaliddwawo munda yange.
28 Bwe munaayogera nti Nga tunaamuyigganya so! Kubanga ekikolo ky'ekigambo kirabise mu nze;
29 Mutyenga ekitala: Kubanga obusungu buleeta okubonereza kw'ekitala. Mulyoke mumanye nga waliwo okusala omusango.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]