1 Omwoyo gwange gumalibwawo, ennaku zange ziwedde, Entaana enneeteekeddeteekedde.
2 Mazima waliwo abakudaazi gye ndi, N'eriiso lyange libeera mu kusosonkereza kwabwe.
3 Leeta nno akakalu, onneeyimirire gy'oli wekka; Waliwo ani anaakwatagana nange mu mukono?
4 Kubanga okisizza omutima gwabwe obutategeera: Kyonoovanga olema okubagulumiza.
5 Oyo aloopa mikwano gye okuba omuyiggo, Era n'amaaso g'abaana be galiggwaawo.
6 Era anfudde ekigambo eky'obuwemu mu bantu; Era nfuuse ekyenyinyalwa mu lwatu.
7 Era n'eriiso lyange lizibye olw'okunakuwala, N'ebitundu byange byonna biri ng'ekisiikirize.
8 Abantu ab'amazima banaakungubazanga ekyo, N'ataliiko musango aneegolokosanga ku oyo atarya Katonda.
9 Era naye omutuukirivu anaakwatanga ekkubo lye, N'oyo alina emikono emirongoofu aneeyongerayongeranga okuba n'amaanyi,
10 Naye mukomeewo mwenna, mujje nno: So ssiirabe muntu wa magezi ku mmwe.
11 Ennaku zange ziwedde, okuteesa kwange kukutuddwa, Era n'okulowooza okw'omu mutima gwange.
12 Bafuusa ekiro okuba omusana: Omusana guliraana ekizikiza, bwe boogera bwe batyo.
13 Bwe nsuubira amagombe okuba ennyumba yange: Oba nga neeyaliiridde ekitanda kyange mu kizikiza;
14 Oba nga nnambye okuvunda nti Ggwe kitange; N'envunyu nti Ggwe mmange era mwannyinaze;
15 Kale essuubi lyange liri ludda wa? N'essuubi lyange aliriraba ani?
16 Lirikka mu bisiba eby'amagombe, Okuwummula nga kumaze okubaawo omulundi gumu mu nfuufu.