Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

एस्तेर / Esther

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42
1 Omuyinza w'ebintu byonna kiki ekimulobera okutereka ebiro? N'abo abamumanyi kiki ekibalobera okulaba ennaku ze?
2 Wabaawo abajjulula obubonero bw'ensalo; Banyaga embuzi lwa maanyi ne baziriisa.
3 Bagoba endogoyi ey'abatalina kitaabwe, Batwala ente ya nnamwandu okuba omusingo.
4 Bakyamya abeetaaga mu kkubo: Abaavu ab'omu nsi beekweka wamu.
5 Laba, ng'entulege mu ddungu Bafuluma eri omulimu gwabwe nga banoonyeza ddala eby'okulya; Ensiko ebawa emmere ya baana baabwe.
6 Basala emaiere ey'ensolo zaabwe mu ttale; Era banoga ezabbibu ez'omubi.
7 Basula ne bakeesa obudde nga tebaliiko kye bambadde, So tebaliiko kye beebikka empowo nga zifuuwa.
8 Batoba n'oluwandaggirize olw'oku nsozi, Era bavumbagira olwazi ngal babuliddwa we beggama.
9 Wabaawo abakwakula abatalina kitaabwe okubaggya ku mabeere, Ne baggya omusingo ku mwavu:
10 N'okutambula ne batambula bwereere nga tebalina kye bambadde, Era enjaia ng'ebalumye beetikka ebinywa;
11 Bakamulira amafuta mu bisenge by'abasajja abo; Balinya amasogolero gaabwe ne balumwa ennyonta.
12 Abantu basinda nga bali mu kibuga ekirimu abantu abangi, Emmeeme y'abo abafumitiddwa n'ekaaba: Naye Katonda takibala okuba obusirusiru.
13 Abo bali ku muwendo gw'abo abajeemera omusana; Tebamanyi makubo gaagwo, So tebabeerera mu mpenda zaagwo.
14 Omussi agolokokera wamu n'omusana, atta omwavu ne yeetaaga; Era ekiro aba ng'omubbi.
15 Era n'eriiso ly'omwenzi liriadirira ekizikiza, Ng'ayogera nti Tewali liiso erinandaba: Ne yeefuula amaaso ge.
16 Mu kizikiza mwe basimira ennyumba: Beggalira emisana; Tebamanyi musana.
17 Kubanga obw'enkya buli ng'ekisiikirize eky'okufa eri abo bonna; Kubanga bamanyi ebitiisa eby'ekisiikirize eky'okufa.
18 Aba wa mbiro ng'amazzi; Omugabo gwabwe gukolimiddwa ku nsi: Tekyukira awali ekkubo ery'ensuku z'emizabbibu.
19 Ekyeya n'ebbugumu bimalawo amazzi agava mu muzira: N'amagombe bwe gatyo gamalawo abo abayonoona.
20 Olubuto lunaamwerabiranga; envunyu eneemulyanga ng'ewoomeddwa; Tajjukirwenga nate: Kale obutali butuukirivu bunaamenyekanga ng'omuti.
21 Alya omugumba atazaala; So takola nnamwandu bulungi.
22 Era awalula n'ab'amaanyi olw'obuyinza bwe: Ayimuka, so tewali muntu asuubira okuba omulamu.
22 Katonda abawa okuba emirembe, ne beesigama okwo; N'amaaso ge gali ku makubo gaabwe.
23 Bagulumizibwa; ne wayitawo ebbanga ttono nga bagenze; Weewaawo, bakkakkanyizibwa, baggibwa mu kkubo ng'abalala bonna, Era basalibwa ng'emitwe gy'ebirimba by'eŋŋaano.
25 Era oba nga si bwe kiri kaakano, ani anannumiriza aga ndi mulimba, Naafuula okwogera kwange obutabaako kye kugasa?

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]